TOP

Ssentebe wa Express afuumuule abakungu abaagifuula eyaabwe

By Musasi wa Bukedde

Added 1st April 2018

Ssentebe wa Express afuumuule abakungu abaagifuula eyaabwe

Exp2 703x422

Nkubuulira Alaali ne George Ssemwogerere

KA nneebaze bonna abaawulira omulanga gwange ne mujja okuyamba Express FC ne muwaayo kye mwasobola era nkimanyi nti n’abalala bakyajja. Nneebaza abantu abazze okunziikirako kitange Omugenzi Godfrey Kirinnya e Kololo Mawokota, Katonda amuwe ekiwummulo eky’emirembe.

Abaganda bagamba nti nnannyini mufu y’akwata awawunya. Abantu bangi bakikoze naye tulina okwebuuza nti tunaatambulira mu mbeera eno okutuusa ddi? Abantu abakutte awawunya be baani?

Ate abatutuusizza wano okutuswaza be baani? Tulina okukkiriza nti ba Express era balumwa naye kye bakola bakimanyi? Bongera kwonoona mu butamanya?

Ebibuuzo ebyo sijja kubiddamu naye buli wa Express abyebuuze oluvannyuma yeddemu nti ttiimu eyo tegenda kuddamu kubeera we yali. Emabegako, waliwo omuwagizi yavuma Hajji Medi Ssebaggala ekigambo nga kizito nnyo era Ssebaggala ne yeerayirira obutaddamu kukulembera Express.

Mu mazima, oluvannyuma omuwagizi oyo yagamba nga tumaze okulonda nti baamuwa ssente ne banne bavume Ssebaggala yeekyawe basseewo ssentebe owaabwe. Ekituusizza Express w’eri kati kiri nti omuwagizi ayogera ekigambo ky’akimanyiiko ng’ayagala bamuwulirize n’atabula ttiimu ng’ate ne gw’ayagala baleete talina busobozi gye biggweera nga ttiimu ezze emabega.

 ajji assan ulwadda ngabuuza ku bazannyi ba xpress Hajji Hassan Bulwadda ng'abuuza ku bazannyi ba Express

Mu kaseera kano, tulina okuba abeegedereza ennyo era ttiimu Express erina kufuuka kkampuni ekulemberwe okusinziira ku migabo. Abakulu abaasonze ssente tubamanyi bulungi naye abasinga baali baatuwa dda ku ssente mu kaseera akazibu nga kano. Kiraga nti waliwo ebitatambula bulungi mu nzirukanya ya ttiimu era wano obuzibu we buva kuba abaliwo tebeebuuza ku babaddewo.

Waliwo abakungu abalina okuwummuzibwako mu express babaddewo nnyo ng’ebintu bitambula bubi era be bamu abalemesa abandituyabye okudda ku ntikko. Abantu abo obwongo bwabeesibira awo era Express eyagala kugogola bonna abakadde okuviira ddala ku mukulu w’abawagizi okutuuka ku ayoza emijoozi bagende kuba bamanyidde nnyo ttiimu era tebakyasobola kulowooza kipya.

Ttiimu yeetaaga bakulembeze abalina endowooza empya ezinyiza okugiyamba okudda engulu. Nsabe ssentebe omuggya Hajj Bulwadda awummuze ku bantu abaludde ku ttiimu ate nga teyeeyongerako.

Express erina abantu bangi abalina obusobozi naye ng’abo abaggwaamu babalemesa kuba balowooza nti be bamanyi ate nga tebamanyi. georgesimlala@gmail.com 0702129092

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.

Tege 220x290

Kyokka mwana ggwe Lydia Jazmine!...

MWANAMUWALA Lydia Jazmine abamu gwe bayita muninkini wa gundi yamalayo. Akola bimusanyusa nga tafuddeyo ku bantu...

Kuba 220x290

Eyagaba abalongo bange yantamya...

NZE Charles Adwor, mbeera Mukono. Nasisinkana munnange mu 2014 nga nkyabeera e Jinja. Ebiseera ebyo nalina omulimu...

Melon1 220x290

Weyune enkola ya kontulakiti ofunemu...

OKUKOLA kontulakiti n’omuguzi y’emu ku ngeri omulimi n’omulunzi mw’asobola okuyita okufuna akatale k’ebintu bye...

Remagrad2 220x290

Rema alangiridde bw’addayo ku yunivasite...

REMA Namakula alangiridde nga bw’agenda okuddayo ku yunivasite e Kyambogo amalirize diguli ye omwaka guno oluvannyuma...