TOP

Nnamukadde anadduka emisinde gya Kabaka

By Musasi wa Bukedde

Added 1st April 2018

Nnamukadde anadduka emisinde gya Kabaka

Kub3 703x422

Nnamukadde Nantume,nga'li ne Kabushenga

NNAMUKADDE Cecilia Nantume olwalabye ku Robert Kabushenga, n’acamuka era n’asaba omujoozi gw’emisinde gya Kabaka kuba naye akyalina embavu ezidduka. Kabushenga, ssentebe w’akakiiko akategeka emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka yabadde agenze wa Swabula Nabakooza ‘Ssenga Kulannama’ mu maka ge agasangibwa e Kigo - Mutungo ku lw’e Ntebe eyaguze tiketi z’emisinde gino 200.

Nnamukadde Nantume, 88, yagambye nti bulijjo Kabushenga awulira muwulire n’okumulaba ku ttivvi era k’amulabyeko, kimuwadde essanyu n’emisinde eginaabeerawo nga April 8, waakugidduka.

Ssenga Kulannama yasuubizza okugabira bakasitoma be n’abakozi be emijoozi gino okubasobozesa okwetaba mu misinde gy’omulundi guno n’agattako okukunga n’abantu abalala okweyiwa mu Lubiri e Mmengo okubugiriza Kabaka.

“Nsaba abantu mwenna okukeera mu Lubiri nga April 8 okubugiriza Kabaka waffe era kaweeefube ono mmwongeddemu amaanyi nga mpita mu kugabira abantu bange emijoozi okubasobozesa okugyetamu,” Ssenga Kulannama bwe yategeezeza nga yaakakwasa Kabushenga ssente. Kabushenga yeebazizza Ssenga Kulannama n’abantu abalala bonna olw’okubeera n’omutima omugabi n’asaba abagagga abalala bagulire abantu abatalina busobozi emijoozi gino beetabe mu misinde gya Kabaka.

Emisinde gino gyakuddukibwa mu mitendera 3 okuli 5, 10 ne 21era okugyetabamu osasula 10,000 ku kitebe kya Vision Group (efulumya ne Bukedde), amaduuka ga Airtel ne ku Bulange e Mmengo. Osobola n’okukozesa enkola ya Airtel Money nga ssente ezinaavaamu, zaakuyamba abalwadde ba ‘sickle cell’ (nnalubiri). Giwagiddwa kkampuni ya Airtel, Postbank, Rwenzori Water ne MAAD Adverstiment Angency n’abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nagiriinya1nu 220x290

Eyaliko yaaya wa Nagirinya bamukutte...

ABEEBYOKWERINDA bongedde amaanyi mu kunoonyereza ku batemu abaawamba oluvannyuma ne batta omuwala Maria Nagirinya....

Shecraneswebnew 220x290

She Cranes yeetegekera za Afrika...

Ttiimu y'eggwanga eya She Cranes etandise okwetegekera empaka za Afrika ezitandika omwezi ogujja e South Afrika...

Do 220x290

Poliisi erondoola aba boda 2 abaamanya...

ABAVUNAANIBWA okuwamba n’okutta Maria Nagirinya ne Ronald Kitayimbwa poliisi ebatutte ew’omusawo okubeekebejja...

Cobapwebweb 220x290

Kiraabu COBAP ewumizza ey'e Kenya...

Kiraabu ya COBAP eraze ginnaayo okuva e Kenya nti ekyali ya bigere mu bikonde, bw'ewumizza abazannyi baayo n'ebaleka...

Nara 220x290

‘Nalaga Abamerika bannaffe be batta...

Grace Bukenya amanyiddwa nga BK akuba bulatti olwa Amerika okusitukira mu Kayihura.