TOP

Joshua tasaaga: Amezze Parker

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd April 2018

OMUGGUNZI w’eng’uumi Anthony Joshua yawangudde omusipi ogwokuna bwe yamezze Joseph Parker enzaalwa y’e New Zealand ku Lwomukaaga.

Wada 703x422

Ye kyampiyoni wa WBO (World Boxing Organisation) gwe yagasse ku WBA (World Boxing Association), IBO (International Boxing Organisation) ne IBF (International Boxing Federation) gye yasooka okuwangula Luno lwabadde lulwana lwa Joshua, enzaalwa y’e Bungereza lwa 21 era tannakubwamu mu buzito bwa heavy.

Wabula obutafaananako n’ennwaana eziyise, Joshua mw’abadde kumpi aseereza erigenda emugga, Parker yamukalubiddeko era olulwana luno abalamuzi be baasazeewo omuwanguzi sso nga bulijjo awangulira ne ‘tonziriranga’.

Mu ngeri y’emu, Parker yakubiddwa omulundi ogusooka mu nnwaana 25 ze yaakalwana.

Mu laawundi 12, Joshua yawangudde 9 ate Parker n’awangula 3 era olwamaze okukwasibwa emisipi gye, n’asaba omulwanyi omulala eyeewulira eryanyi kuba ye akola byafaayo.

Joshua, alimu omusaayi gw’e Nigeria yagambye nti kati ayagala kwabika ne Deontay Wilder alina omusipi gwa WBC (World Boxing Council).

Olulwana luno olwabadde mu kibuga Cardiff ekya Wales, lwalabiddwa bannabyamizannyo okuli n’eyali ssita wa Bungereza, Paul Gascoigne.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Thursday991633393 220x290

Abalenzi baleebezza abawala mu...

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kifulumizza ebyavudde mu bibuuzo bya PLE ebiraze nti...

105190074ibraronepa 220x290

Zlatan acoomedde Ronaldo: 'Tolina...

ABAALIKO ba Sitta ba Man U batabuse omu n’acoomera munne okweyita kafulu nga talina ttiimu nafu mwe yali azannyidde....

Babuweb 220x290

Abeebikonde beebugira mpaka za...

Ttiimu z'ebikonde ez'enjawulo ziri mu keetalo nga zeetegekera okwetaba mu mpaka za National Boxing Open Championship...

Mugoodaweb 220x290

Bamusaayimuto banattunka mu mizannyo...

Bamusaayimuto e Jinja oluwummula baakulumalako nga basanyufu nga battunka mu mpaka za 'Go Back to School Gala'...

Bampa 220x290

Ekyakonzibya ebikonde bya Uganda...

KIZIBU munnabyamizannyo yenna okukkiriza kati nti omuzannyo gw’ebikonde gwatuusaako Uganda mu kifo ekyokusatu mu...