TOP

Kyetume FC ekansizza Mbabazi

By Musasi wa Bukedde

Added 6th April 2018

Mbabazi yagobwa Onduparaka omwezi oguwedde olwa ttiimu ye okukola obubi nga kati azze mu bigere bya Augustine Nsumba, abadde omutendesi wa Kyetume.

Mbabazi 703x422

Mbabazi

EYALIKO omutendesi wa Onduparaka FC, Livingstone Mbabazi awonye akatebe ttiimu ya Kyetume eya Big League bw’emuwadde omulimu ku ndagaano ya mwaka gumu n’ekitundu.

Mbabazi yagobwa Onduparaka omwezi oguwedde olwa ttiimu ye okukola obubi nga kati azze mu bigere bya Augustine Nsumba, abadde omutendesi wa Kyetume.

Julius Kabanda omwogezi wa Kyetume yakakasizza okwegatta kwa Mbabazi ku ttiimu yaabwe n’agamba nti baamuwadde obukwakkulizo bw'okuzza ttiimu yaabwe mu bifo  eby'oku mwanjo.

Kyetuma eri mu kifo kyakutaano mu kibinja kya Elgon n’obubonero 28 mu mipiira 19 ng’ekyalira JMC Hippos ku Lwokuna lwa wiiki ejja.

Bya GERALD KIKULWE

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.