TOP

Nyamityobora FC emenye likodi ya Kira United

By Musasi wa Bukedde

Added 6th April 2018

Nyamityobora FC emenye likodi ya Kira United

Ki1 703x422

Bya Gerrald Kikulwe

OMUTENDESI wa Nyamityobora FC mu Big League James Odoki olumenye Likodi ya Kira United eya sizoni emu n’ekitundu nga tekubirwa ku kisaawe kyayo e Kira n’awera nga bw’aleeta ttiimu endala mu Liigi ya babinywera.


Kira United yamalako sizoni ewedde yonna nga tekubiddwaamu mupiira gwonna awaka era ne sizoni eno bukya etandika ebadde tenakubwamu okutuusa Nyamityobira FC bwe yagirumbye n’egikuba ggoolo 1-0 mu mupiira ogwayongedde okutangaaza emikisa gyayo egy’okwesogga “Super” ng’abakulembedde ekibinja kya Rwenzori oluvannyuma lw’okuteekawo enjawulo ya bubonero 6 bw’esinza Kira abali mu kyokubiri.

 


“Obuwanguzi buno bumpadde essuubi nti bw’etebeere ntaanya, Namityobora yakuzannyira mu Liigi yokuntikko sizoni ejja ate nga bwe nakola okuyingiza JMC Hippos,sigenda kuganya kusuula kabonero konna mu mippira 5 egisigaddeyo,” Odoki bwe yaweze.


Nyamityobora kati yeenywerezza ku ntikko y’ekibinja n’obubonero 42 mu mipiira 19  wabula Kira United abali mu kyokubiri n’obubonero 36 mu mipiira 20 nga basinzaako omupiira gumu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.