TOP

She Cranes ekubye Malawi mu za Commowealth Games

By Silvano Kibuuka

Added 7th April 2018

SHE Cranes efunidde Uganda obuwanguzi obusoose mu mizannyo gya Commonwealth Games bw’ekubye Malawi ku ggoolo 54-52 mu nsiitaano ey’amaanyi mu kibuga Gold Coast, ekya Australia.

00301639115d1e9f72f3154dd3ba280cb849f664arc495324w495us1 703x422

Uganda ekulembedde ekitundu ekisooka 30-25.

Omuzannyo ogubadde ogwa jangu onkwekule naddala mu kitundu ekyokuna nga bakira buli ttiimu ekulembera ginne waayo akabonero kamu ate ne bamala ne basibagana.

Ng’ebula eddaliika 4, abazannyi ba She Cranes bongedde okulabagana ne bawamba amakkati ate n’okukozesa aba Malawi ensobi mu ntabwe ne bateeba eza peneti.

Omuteebi Peace Proscovia nga ye kapiteeni wa ttiimu era n’ekibinja kya Uganda mu Commonwealth Games zino ayongeddemu obukodyo bw’okufuna emipiira emiwangu bakira gye bamuweereza mu ntebwe n’ateeba Uganda n’ereka Malawi mu bubonero 51-49.

Malawi ezze eva emabega wabula n’eremwa okuyunga era abazannyi batulise ne bakaaba amaziga oluvannyuma lw’okukubwa omupiira ogwokubiri.

Abazannyi ababadde mu nsiike ye Lilian Ajio, Ruth Meeme, Halima Nakachwa, Stella Nanfuka, Florence Nanyonga, Rachael Nanyonga ne Peace Proscovia.

Mu gwagguddewo, Uganda yakubiddwa New Zealand ku ggoolo 64-51.

Kati Uganda She Cranes eri mu kifo kyakusatu n’obubonero bubiri mu kibinja ‘B’.

Enkya (Sunday) Uganda ekwatagana ne England.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Condomismaelssempumatestimonywebuse 220x290

Enkozesa ya kondomu eneekutangira...

Okwesunga akaboozi ekisusse kiremesezza bangi okukozesa kondomu

Kab2 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi z'omukenkufu tukulaze engeri butto w'obusigo bw'amapaapaali gy'akola ku maaso n'embuto ez'esiba...

Kig1 220x290

Akatabo ka Ham kawangudde engule...

Akatabo ka Ham kawangudde engule ey'okubiri

Kabaleeweb 220x290

Kabale Sharp bagikubye ne yeekwasa...

Kabale Sharp eya Big League, ewangudde Water FC, n'esannyalaza emikisa gyayo okwesogga liigi ya babinywera

Hajjathanifakawooya 220x290

Kkooti y'e Sembabule terina kaabuyonjo...

OMUBAKA omukazi owa disitulikiti y’e Sembabule, Hanifa Kawooya, asabye gavumenti okuzimba ekizimbe kya kkooti y’e...