TOP
  • Home
  • Emisinde
  • CHEPTEGEI: Agguliddewo Uganda okuwangula emidaali mu Commonwealth

CHEPTEGEI: Agguliddewo Uganda okuwangula emidaali mu Commonwealth

By Musasi wa Bukedde

Added 8th April 2018

UGANDA, etandise okuloza ku ssanyu ly'emidaali mu mizannyo gya Commonwealth, Joshua Cheptegei bw'awangudde omudaali gwa zaabu n'atuukiriza ebigambo bye yasuubiza Bannayuganda nga tannasituka kugenda mu kibuga Gold Coast ekya Australia, emizannyo gino gye giyindira.

Joshuacheptegei1650433 703x422

Cheptegei ng'asanyukira obuwanguzi. Ku ddyo ye Ayeko.

Bya L. LUBUULWA, GOLD COAST

Abaawangudde emidaali; 1. J. Cheptegei (UGA) 13:50.83

2. M. Ahmed (CAN) 13:52.78

3. Pingua Zakayo (KEN) 13:54.06

4. Thomas Ayeko (UGA) 13:54:78

5. S. Mcsweyn (AUS) 13:58.96

6. PHILLIP KIPYEKO (UGA)13:59.59

Cheptegei, awangudde embiro z'okwetooloola ekisaawe emirundi 12 n'ekitundu (mita 5000) ze yaddukidde 13:50.83 nga yamezze Mohammed Ahmed owa Canada (13:52.78) ne Munnakenya Edward Pingua Zakayo eyakutte ekyokusatu (13:54.06).

Guno gwe mudaali gwa Uganda ogusoose mu mizannyo gino sso nga gwe gwa Cheptegei ogwokubiri mu bbanga lya myezi munaana okuva lwe yawangula omudaali gwa feeza mu mbiro za mita 10,000 mu mpaka z'ensi yonna ezaali e London mu August w'omwaka oguwedde.

Obuwanguzi buno, bwongedde okumatiza Bannayuganda n'abantu abalala abaali balowooza nti Cheptegei talidda ngulu okuva lwe yalemwa okumalako embiro mu misinde gya World Crosscountry mu March w'omwaka oguwedde ng'akabengo kamusimbye.

Bannayuganda abalala abaabadde mu mbiro zino, Thomas Ayeko yamalidde mu kyakuna nga yaziddukidde 13:58.96, sso nga Phillip Kipyeko yamalidde mu kyamukaaga ng'emisinde gino yagiddukidde 13:59.59.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lampholders3webusenew 220x290

Omulimu gwe nasomerera mwe nayiiyiza...

Nakolerera okuva mu kukozesebwa era mu myaka ena nnali nneekozesa ku mulimu gwe nasomerera.

Funayo1 220x290

Leero mu mboozi z'Omukenkufu tukulaze...

WIIKI ewedde nawandiise ku birime by’osobola okulima n’ofunamu ssente mu nkuba eno etonnya. Ekimu ku bye nakonyeeko...

Wereza 220x290

‘Abakyala mukomye okwetonaatona...

AKULIRA ekibiina ky’abakyala abafumbo mu bulabirizi bwe Namirembe ekya Mother’s Union, Josephine Kasaato akuutidde...

Twala1 220x290

Abakyala n’abavubuka e Wakiso Gavt....

GAVUMENTI ewadde abakyala n’abavubuka ba Wakiso Town Council mu disitulikiti ya Wakiso ssente z’okwekulaakulanya...

Omukoziwekitongolengapakiraebyamaguziebitalikumutindo 220x290

 Abasuubuzi b’e Masaka beezoobye...

“Abasuubula ebintu bino mubamanyi era mmwe mubakkiriza nga babawadde enguzi bwe mumala n emwefuulira ffe abatalina...