TOP

Cheptegei awangulidde Uganda omudaali omulala ogwa zaabu

By Musasi wa Bukedde

Added 13th April 2018

Munnayuganda Joshua Cheptegei awangulidde Uganda omudaali omulala ogwa zaabu mu fayinolo y'emisinde gyammita 10,000 egiyindidde ku kisaawe kya Carrara Sports Centre.

00013z80e 703x422

Mmita 10,000 (Fayinolo,8:10 emisana)

Munnayuganda Joshua Cheptegei awangulidde Uganda omudaali omulala ogwa zaabu mu fayinolo y'emisinde gya mmita 10,000 egiyindidde ku kisaawe kya Carrara Sports Centre.

Ku Ssande ewedde, musaayimuto Cheptegei (21) yawangulidde Uganda omudaali ogwasoose mu mizannyo gy’omwaka guno egiyindira mu kibuga Gold Coast mu Australia, nga gwabadde gwa zaabu mu mmita 5,000.

Wabula asanze okuvuganya okwamaanyi n'Omucanada Muhammed Ahmed obwedda amulemeddeko kyokka afunvubidde n'amuleka era n'amuwangula.

Kati Uganda ewezezza emidaali etaano omuli esatu egya zaabu (egya Cheptegei ebiri) kw'ogatta n'ogwa Stella Chesang gwe yawangula mu misinde, wamu n'emidaali egy'ekikomo ebiri omuli ogwa Mercyline Chelangat n'ogwa Miiro ow'ebikonde.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190718192802 220x290

Okwogera kwa Pulezidenti Museveni...

Okwogera kwa Pulezidenti Musevebni eri eggwanga. Tuli mu maka g'Obwapulezidenti e Nakasero

Massagebeingdonewebuse 220x290

By'olina okutunuulira nga tonnakola...

Nakola masaagi ne ntemwako okugulu era ntambulira mu kagaali - Dr. Karuhanga

Omukubayizingalikobyanyonyolawebuse 220x290

Abawala abazaddeko mubazze mu masomero...

Abawala abazaddeko okudda mu masomero kyakuyigiriza abalala obutakola nsobi n'okubudaabuda abafunye obuzibu bwe...

Teekawo1 220x290

Akakiiko ka bannamateeka kasazizzaamu...

OLUKIIKO olufuzi olwa bannamateeka ba Uganda Law Society olukwasisa empisa lusazizzaamu ekibonerezo ky'emyaka ebiri...

Club 220x290

Vipers bagitutte mu kkooti lwa...

KIRAABU ya Vipers bagitutte mu kkooti lwa kukozesa akabonero kaayo (logo) nga tebasasudde yakakola. Era eyabawawaabidde...