TOP

Omupiira gwaffe guli mu kattu lwa zzaala

By Musasi wa Bukedde

Added 15th April 2018

Omupiira gwaffe guli mu kattu lwa zzaala

Web2 703x422

EbyemizannyoNKUBUULIRA ALAALI ne George Ssimwogerere

BULI kintu kifa kiva waggulu ne kisaasaanira ebitundu ebirala. Nzize mbagamba nti mu Uganda, abantu tebaagala kumanya mazima kasita abeera ng’alina w’aliira. Eyali minisita w’Ebyenjigiriza n’emizannyo Jesca Alupo bwe yayita aboomupiira mu ofiisi ye, yayiga bingi era yamanya n’obufere mu nzirukanya y’emizannyo n’akola enkyukakyuka mu bitongole ebimu. Obufere ne zzaala ye yali abitegedde nti bigenda kulya omupiira gwa Uganda.

Poliisi ekutte mpola nnyo abayaaye b’omupiira wadde nga tufubye okubawa bwino kyokka balaba nga ffe abatayagaliza. Ekiseera kijja kutuuka ng’omupiira gwaffe gutambulira mu zzaala kuba poliisi tefuddeeyo kukwata bamukola.

Police FC URA FC zaaloopa abazannyi abaatunda emipiira naye tebaabifaako. Pulezidenti wa FUFA, Moses Magogo yayitibwako ku kitebe kya poliisi e Kibuli ku nsonga ze zimu naye ne babifutyanka n’okutuusa kati tewali alondoola bantu bano sso ng’awo we baalina okutandikira okumanya abeenyigira mu zzaala n’engeri gye bamukolamu.

Abazannyi abaatunda emipiira, ttiimu zaabwe bwe zaamanya, zaakolawo ki? Baakolagana n’ani? Emipiira gy’omukwano Cranes gy’ezannye, bazifuna batya? Ntuufu? Zirina kigendererwa ki? Omupiira guyingiddemu bamafia era gugenda. Ekisooka, abazannyi baavu, kiraabu njavu ate bamafia balina ssente.

Omuzannyi okutunda omupiira takirabamu buzibu kuba bafuna buswazzi ne FUFA ssente z’efuna ezisinga y’ezisigaza. FUFA yagoba kkampuni ya SuperSport eyali ewa kiraabu ssente eziwera sso nga siponsa wa liigi aliko kati, kiraabu aziwa ssente ntono ate eri mu nsi ntono ekyongera okulaga bamafia abali mu mupiira gwaffe.

Mu ngeri y’emu, Express yawummuza kapiteeni waayo nti alina b’akolagana nabo okutunda emipiira. Ttiimu zizze zikyogera naye nga bamafia bo bakimanyi era tebafaayo kuba bwe buzannyo bwabwe era ekigendererwa kyabwe kufuna ssente.

Waliwo bwino eyajja nga Magogo atunze tiketi za Uganda ezaali ez’okulaba World Cup n’aziguza abazungu naye poliisi ya Uganda yatunuulira mutunuulire n’okumu-ggyako emisango emirala ayongere okuyisaawo bannabyamizannyo.

Kino kiraga nti omupiira gugenda, ebisaawe byagenda dda. Nziramu okubagamba nti ekyennyanja okududa kitandikira ku mutwe. georgesimlala@gmail.com 0702129092

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Jazima 220x290

Lydia Jazmine agenze Bungereza...

Lydia Jazmine, maneja we omupya amututte Bungereza kuwummulamu 'asale' situleesi.

Wata 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUNA AKULEETEDDE...

Abasisinkanye Gen. Kayihura gye bamusibidde ababuulidde ku bya Kaweesi era bisange mu Bukedde wo muyizzi tasubwa....

Keejagongule5 220x290

Kabaka ayise munne owa Ghana ku...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II ayise Omukulembeze w’Obwakabaka bwa Asante e Ghana nga ye Otumfuo Nana Osei Tutu...

Hockeyyouthsstranded6 220x290

Abayizi bakonkomalidde mu nkambi...

Abazadde beezoobye n’abaddukanya omuzannyo gwa Hockey lwa kulemererwa kutwala baana baabwe mu mpaka za Africa ez’abato...

Latest004pix703422 220x290

Baroza eyali omuyambi wa Kayihura...

POLIISI etandise okunoonya eyali omuyambi wa Gen Kale Kayihura , ACP Jonathan Baroza oluvannyuma lw’okudduka mu...