TOP

Battunse mu liigi y'abakazi

By Musasi wa Bukedde

Added 16th April 2018

NG’EBULA emipiira ebiri gyokka Women Elite League okutuuka ku mutendera gwa 'Play offs', omutendesi wa Gafford Ladies FC Steven Wabwere afuuyirira lunwe ttiimu ye okweggyako ekikwa ky’okuwandukira mu kibinja okuva 2015.

Gafford1 703x422

Abazannyi ba Gafford mu Kamyufu nga battunka ne Kawempe mu bbulu

Bya GERALD KIKULWE

Egyazanyiddwa FUFA Women Elite League 2017/18

Western United 0-0 Muteesa 1 Royal

Gafford ladies 2-0 She Corporate

Kawempe Muslim 2-0 Ajax queens

UCU Lady Cardinals 1-0 Uganda Martyrs

She Mak 3-1Isra Soccer Academy

Gafford yasobodde okuwangula She Corporates ggoolo 2-0 ku lwomukaaga ku Kisaawe e Kanyanya omupiira ogwatangazizza emikisa gyayo nga kati eri akabonero kamu kokka emabega wa Ajax Queens abali mu kyokubiri n’obubonero 18 oluvannyuma lwa Kawempe okuwangula Ajax ggoolo 2-0 ku kissawe e Kawempe ate nga buli kibinja batwalako ttiimu bbiri zokka okuzannya ku mutendera gwa Play Offs.

“Twakoma okuzannya Play Offs mu sizoni ya 2015/16,omulundi guno ndi ku ssaala kuba okuvuganya kukyali kw’amaanyi kyokka emipiira giweddeyo,”Wabwere bwe yategeezezza. 

Jacky Ogol ne Monica Namwase be baatebedde Gafford okuginywereza mu kifo ekyokusatu n’obubonero 17, Ajax Queens mu kyokubiri n’obubonero 18 ate Kawempe y’eri ku ntikko y’ekibinja kino ekya Victoria n’obubonero 26.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Jazima 220x290

Lydia Jazmine agenze Bungereza...

Lydia Jazmine, maneja we omupya amututte Bungereza kuwummulamu 'asale' situleesi.

Wata 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUNA AKULEETEDDE...

Abasisinkanye Gen. Kayihura gye bamusibidde ababuulidde ku bya Kaweesi era bisange mu Bukedde wo muyizzi tasubwa....

Keejagongule5 220x290

Kabaka ayise munne owa Ghana ku...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II ayise Omukulembeze w’Obwakabaka bwa Asante e Ghana nga ye Otumfuo Nana Osei Tutu...

Hockeyyouthsstranded6 220x290

Abayizi bakonkomalidde mu nkambi...

Abazadde beezoobye n’abaddukanya omuzannyo gwa Hockey lwa kulemererwa kutwala baana baabwe mu mpaka za Africa ez’abato...

Latest004pix703422 220x290

Baroza eyali omuyambi wa Kayihura...

POLIISI etandise okunoonya eyali omuyambi wa Gen Kale Kayihura , ACP Jonathan Baroza oluvannyuma lw’okudduka mu...