TOP

Uganda etandise na maliri mu CECAFA ya U17

By Musasi wa Bukedde

Added 16th April 2018

Musaayimuto wa Vipers, Moses Bakkabulindi ye yateebye ggoolo eyawadde Uganda akabonero mu mupiira gwe yagguddewo ne ttiimu ya Tanzania ku Ssande mu mpaka za Cecafa U17 Championship eziyindira e Burundi.

Da1yrdtx4aazzli 703x422

Bya JOSEP ZZIWA

Egyazannyiddwa

Lwamukaaga

Burundi 0-4 Kenya

Somalia 1-3 Ethiopia

Ssande

Uganda 1-1 Tanzania

Tanzania ye yasoose okuteeba ng'eyita mu Agiri Ngoda mu ddakiika ya 30 wabula Uganda yasigadde erumba okutuusa Moses Bakkabulindin owa Vipers ey’abato bwe yateebye ey’ekyenkanyi mu ddakiika y'e 86 bw'atyo n'aggya Uganda ku kaguwa.

Uganda ekomawo mu nsiike ku Lwokusatu ng'ettunka ne Sudan era omutendesi Onen Peter yategeezezza nti musanyufu olw’akabonero akamu ke yafunye kuba gwe mupiira ogwasoose ate abazannyi kumpi bonna bapya ku mutendera guno kyokka alina essuubi nti kino kya bawadde obuvumu n'eby'okuyiga era asuubira obuwanguzi mu mipiira egiddako.

Mu gyasooseewo ku Lwomukaaga Kenya yawuttudde abategesi aba Burundi 4-0 ne Ethiopia n’etimpula Somali 1-3.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknmin1 220x290

Minisita Nakiwala ayingidde mu...

Omuwala Julian Ainambabazi (30) eyali akola mu bbaala emu e Mukono n’aganzibwa omubaka wa palamenti owa Samia Bugwe...

Chelseacahill 220x290

Cahill akooye bbenci

Aston Villa, y'emu ku ttiimu ezaagala okugula Cahill kyokka eno ya Championship nga ye ayagala kuzannyira mu Premier....

Loodi 220x290

Bano babeera wa nga Lukwago bamusika...

LOODIMEEYA Erias Lukwago y’omu ku bannabyabufuzi abazze bafuna okusoomoozebwa n’okutulugunyizibwa abaserikale....

United 220x290

Ebizibu bye ndabidde mu laavu mbikubye...

NZE Justine Nalweyiso 24, mbeera Kyebando Nsooba ndi muyimbi nga nnaakayimba ennyimba okuli Bbebi Ndunya, Ndaba...

Newsengalogob 220x290

Njagala ayimba oluyimba lw'eggwanga...

NKOZE ntya mukazi wange asobole okuyimba oluyimba lw’eggwanga ng’aleekaana? LWAKI oyagala aleekaane? Abasajja abamu...