TOP

Museveni ayise ttiimu ya Commonwealth ku kijjulo makeke

By Musasi wa Bukedde

Added 21st April 2018

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo, Janet Museveni asiimye ttiimu ya Uganda eyeetabye mu mizannyo gya Commonwealth olw’okwolesa omutindo omulungi n’ekomawo n’emidaali.

Ntege1 703x422

Ttiimu ya Uganda yonna eyagenda mu Commonwealth yeekubisizza ekifaananyi ne baminisita b’ebyenjigiriza n’emizannyo. Wakati mu kyenvu ye Janet Museveni ate abasembye ku ddyo ye Chrizestom Muyingo (asembyeyo) ne Charles Bakkabulindi amuddiridde.

Emizannyo gino agyabumbujjidde mu kibuga Gold Coast ekya Australia wakati wa April 4 ne 15.

Janet Museveni eyayanirizza ttiimu eno ku kisaawe e Ntebe yasinzidde mu lukiiko lw’abaamawulire n’asiima omutindo n’obumalirivu abazannyi bwe baalaze ne balwanirira eggwanga lyabwe. “Mwebale kulaga nsi nti Uganda erina ebitone era ekyali kirimaanyi mu mizannyo. Mwataddewo essuula empya eri bannammwe abato era tubeebaza olw’okuwa Bannayuganda essanyu,” Janet Museveni bwe yagambye nga ttiimu yaakatuuka.

Yakubirizza abazannyi okuba abamalirivu n’okulembeza Katonda n’amaanyi g’essaala kuba bye bituusa omuntu ku buwanguzi.Ttiimu eno yaakusisinkana Pulezidenti Museveni enkya (Ssande) ku kijjulo oluvannyuma lw’okufuna ekyasoose ekyabadde ku wooteeri ya Imperial Royale mu Kampala.

Uganda yawangudde emidaali mukaaga okwabadde egya zaabu esatu egyawanguddwa abaddusi Joshua Cheptegei ne Stellah Chesang, feeza gumu ogwa Solomon Muntai n’egy’ekikomo ebiri egyawanguddwa omuddusi Mercelyne Chelangat n’omukubi w’ebikonde Juma Miiro. Emidaali gino gyayambye Uganda okumalira mu kifo ky’e 15 ku nsi 71 ezeetabye mu mizannyo gino.

Mu balala abaayanirizza ttiimu kuliko; minisita w'emizannyo Charles Bakkabulindi, minisita w'ebyenjigiriza ebya waggulu Chrizestom Muyingo, kaminsona w'ebyenjigiriza n'emizannyo Omara Apita, abakungu okuva mu kakiiko ka NCS n'abakulembeze b'ebibiina by'emizannyo n'abalala.

ABAWANGUDDE EMIDAALI BAWADDE OBUBAKA;

Joshua Cheptegei; Ndi musanyufu olw’obuwanguzi bwe natuuseeko era nkakasa bugenda kuzzaamu abaana abakyali abato amaanyi. Nsaba Gavumenti eyongere amaanyi mu kutumbula emizannyo okuviira ddala mu byalo kuba ebitone bingi ebiriyo naye nga tebifiiriddwaako.

Stellah Chesang; Ekisa kya Katonda kye kyantuusizza ku buwanguzi era kimpadde obumalirivu okwongera okukola ennyo okuwangula emidaali emirala.

Juma Miiro; Obumalirivu n’okwekkiririzaamu bye byampanguzza omudaali era nsuubiza okwongera okukola n’amaanyi mu mpaka eziddako. Nsaba Gavumenti obutatuteerera mu buvujjirizi.

Solomon Muntai; Okwawukanako emirundi egiyise, ku luno twetegese ekimala era y’ensonga lwaki twaleese emidaali egisinga ku gye tutera okuwangula mu mizannyo nga gino. Twebaza Gavumenti olw’okututeekamu buli kyetaagisa.

Mercelyne Chelangat; Ku mulundi guno twagenze mu enkambi erimu ebbugumu olw’enteekateeka ennungi gye twalina. Ekirala twetegekedde okumegga bakirimaanyi nga Kenya era ne tukituukiriza.

Abazadde, abeng’anda n’abawagizi b’abaddusi okuva mu disitulikiti y’e Kweeni ewava abaddusi bano abaabadde bakulembeddwa Major.

Juma Seiko kata ennaku ebattire ku mulyango oguyingira awatuukirwa abazannyi bwe baagaaniddwa okuyingira balabe ku baana baabwe ne mikwano gyabwe.

Bano baatuuse obudde obuyingira buweddeko era wadde Seiko yennyonnyoddeko ekimala ng’abantu be yabadde akulembedde bwe bali ab’enganda z’abazannyi tekyamutaasizza. Oluvannyuma bakkiriziddwa okuyingira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Index 220x290

'Mwenyigire mu by'obulimi ebivaamu...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okumwegattako okulwanyisa abakulu b’amasomero abasaaawo ffiizi ez’ekimpatiira...

Plana 220x290

Bobi Wine akoze pulaani endala...

BOBI Wine bwe yavudde e Jamaica yasookedde ku mukolo gwa muganda we Fred Nyanzi era eno gye yayanjulidde pulaani...

Kcca 220x290

Ebbaluwa y’abasuubuzi ku by’oluguudo...

EBBALUWA y’abasuubuzi mu Kampala abeegattira mu KACITA gye baawandiikidde Loodi meeya Erias Lukwago ne dayirekita...

Sanyu1 220x290

Kyokka Golola Moses of Uganda!...

OMUKUBI w’ensambaggere Golola Moses of Uganda nga bwe yeeyita yajagalazza abantu bwe yalabiddwaako ng’ali n’omuwala...

Ni 220x290

Nagenda okuva mu kkomera nnasanga...

NZE Joshua Kayiira nga ndi musuubuzi mu kibuga Kampala naye nga mbeera Kawaala.