TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mutebi apondoose n’akkiriza abazannyi be okugenda ku y’eggwanga

Mutebi apondoose n’akkiriza abazannyi be okugenda ku y’eggwanga

By Musasi wa Bukedde

Added 21st April 2018

OMUTENDESI wa KCCA FC, Mike Mutebi yeefukuludde n’akkiriza abazannyi be yabadde agaanyi okugenda ne ttiimu y’eggwanga ey’abali wansi w’emyaka 20 (The Hippos).

Kuba703422 703x422

Omutendesi wa KCCA FC, Mike Mutebi

Lwamukaaga mu z’Afrika;

South Sudan - Uganda

Leero mu Uganda Cup;

Kitara - KCCA FC, 10:00 e Hoima

Mutebi ku Lwokuna yategeeza nga bwatagenda kukiriza bazannyi be Allan Okello ne Julius Poloto kugenda South Sudan, The Hippos gy’egenda okudding’anira ne bannyinimu mu z’okusunsulamu abalizannya ez’Afrika ez’abatasussa myaka 20.

Leero (Lwamukaaga), KCCA ettunka ne Kitara FC mu gwa Stanbic Uganda Cup, omupiira Mutebi gwe yagambye nti mukulu nnyo eri ttiimu ye era yeetaaga abazannyi be bonna okubeerawo.

Nga Hippos tennasitula eggulo (Lwakutaano) okwolekera ekibuga Juba gy’egenda okuttunkira ne South Sudan, abazannyi bano beeyanjudde mu nkambi e Lubowa era omutendesi Matia Lule n’awera nga bw’agenda okulwana okulaba nga ttiimu ye eyitawo okugenda ku luzannya oluddako. The Hippos yawangula ogw’oluzannya olwasooka e Lugogo bwe yakuba South Sudan (The Bright Stars) ggoolo 5-1.

“Tukimanyi nti South Sudan egenda kulwana okulaba ng’ekyusa ebyali e Lugogo wabula tuli bulindaala okugiremesa kuba ttiimu yaffe yajjudde ate abazannyi bonna bamalirivu okuwangula,” Lule bwe yategeezezza nga ttiimu tennasitula eggulo (Lwakutaano).

Singa Hippos eyitawo, yaakusisinkana Cameroon ng’anaayitawo, y’anaagenda mu z’akamalirizo e Niger mu February w’omwaka ogujja.

Abazannyi abaagenze; Said Keni, Paul Willa, Robert Kitabalwa, Mustafa Mujjuzi, Geoffrey Wasswa, Abubaker Kasule, Julius Poloto, Allan Okello, Frank Tumwesigye, Joshua Okiror ne Steven Mukwala. Abalala ye; Denis Otim, Bashir Asiku, Fred Okot, Saddam Masereka, Faizal Ssekyanzi, Hamis Tibita ne Salim Kyobe.

Beegattiddwaako abatendesi 3; Matia Lule n’abamyuka be; James Odoch ne Sam Kawalya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abataka1webuse 220x290

Tetugenda kusirika ng'ebika bisereba...

Bakatikkiro b'ebika balayidde obutaleka bika kusereba ne basalawo okwegatta bakolere wamu okubitumbula

Muzaata 220x290

Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni...

Pulezidenti Museveni asisinkanye akakiiko ka poliisi akafuzi n’alagira abaserikale essira balisse ku kulwanyisa...

Lim21webuse 220x290

Engeri gy'olimira mu kkutiya okufuna...

Omusomesa akulaga bw'akozesa ebikutiya okukola ssente mu kulima enva endiirwa

Bebi 220x290

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu...

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu

Pawa4 220x290

Gav't etongozza enteekateeka ya...

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda...