TOP

Ttiimu za Rugby zeeswanta kutegeka mpaka za East Afrika

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd April 2018

TTIIMU za Rugby bbiri zeeswanta oluvannyuma lw’okulondebwa okukyaza n’okutegeka empaka za 2018 East Africa Rugby Super Cup ezisookedde ddala wano ku kisaawe kya Kyadondo e Lugogo.

Asmanmugerwanomupiirangabattunkamuliigi 703x422

Asman Mugerwa n'omupiira nga battunka mu Liigi.

Bya GERALD KIKULWE

Bakyampiyoni ba Nile Special Rugby Premiership aba  Black Pirates  ne  Shell Rimula Rhinos baakwambalagana n’eza Kenya okuli; Kenya Commercial Bank (KCB) ne Kabras Sugar Rugby club omwezi ogujja okuva nga 9 – 12.

Mu ngeri y’emu ne Munnayuganda Asuman Mugerwa azannyira Kabras Sugar Rugby club ali mu kujaganya  olw’okufuulibwa kapiteeni wa Uganda Rugby Cranes  omuggya oluvannyuma lw’omuzibizi wa Heathens, Michael Okorach abaddewo okufuulibwa Kapiteeni wa Rugby 7s Cranes ng’adda mu kifo kya  Eric Kasita.

Robert Seguya omumyuka w’omutendesi  wa Rugby Cranes agamba nti Mugerwa aweereddwa obuvunaanyizibwa buno olw’obumanyirivu bw’alina okuva 2014 lwe yeegatta ku ttiimu eno ate ne bazannyi banne bamuwuliriramu nnyo.

Rugby Cranes ekyaza Barbarians RFC okuva e South Africa mu gw’omukwano ku Legends Rugby Club.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiromayigangaalinaboogezibokumikoloabeetabyekumukologwoluwalokubulanekulwokubiri002webusenu 220x290

Katikkiro Mayiga abakubirizza okunnyikiza...

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akubirizza Ab'e Buluuli ne Ssese okunnyikiza obulimi kubanga teri mulimu...

Manya 220x290

Abakazi abasinga tebamalaamu kagoba...

Abakazi emirundi 6 ku 10 gye beegatta mu kaboozi tebatuuka ku ntikko. Wabula babuulire kwekoza nga abamazeemu akagoba....

Saalwa703422 220x290

Teddy ayanukudde Bugingo ku bya...

TEDDY Naluswa Bugingo ayanukudde bba Paasita Aloysius Bugingo ku kya ffiizi z’abaana ne ssente.

Florencekiberunabalongowebuse 220x290

Alina olubuto lw'abalongo ne by'olina...

Abasawo balaze abalina olubuto olulimu omwana asukka mu omu bye balina okukola obutabafiirwa nga tebannazaalibwa...

Research1 220x290

Ebizibu ebibeera mu kutambuliza...

ABATANDIKA omukwano ekimu ku birina okwewalibwa ku kugutambuliza mu kweteeka mu butaala ate nga si bwoli.