TOP

Empaka za ttena w'ekyoya zitandise leero

By Silvano Kibuuka

Added 25th April 2018

Empaka za ttena w'ekyoya zitandise leero

Feb1 703x422

EMPAKA za ttena ey’ekyoya ez’abalina obulemu ku mibiri zitandise leero okubumbujjira ku Lugogo Indoor Arena nga zeetabiddwamu abazannyi abasoba mu 130 okuva mu mawanga 14.

Abazannyi  okuva mu mawanga ga Africa baatuuka mu Uganda ku Lwokutaano ne batandika okubangulwa abatendesi abakugu okuva mu kibiina ekifuga omuzannyo guno mu nsi yonna ekya World Badminton Federation (WBF) okubayirigiza obukodyo obupya so nga n’anasinga bazannye empaka zino omulundi ogusooka.

Abazannyi era baasengekeddwa okusinziira ku bulemu obuli ku buli omu nga bali mu bubinja mukaaga.

Abazannyira ku bugaali bali bokka, abalema b’emikono gyokka nabo bakwatagana bokka, so nga n’abaamagulu bwe batyo.

Abazannyi okuva mu DR. Congo wamu n’aba Zimbabwe be bakyalindibwa okwetabamu ng’abaatuse edda bavudde mu Kenya, Ghana, Nigeria, Cameroon, ne Egypt.

Abavudde ebweru wa Africa kwe kuli India, Brazil, Israel, France, Poland, Scotland ne Malaysia.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

KCCA eggadde woteeri: Babadde bafumbira...

KCCA eggadde woteeri: Babadde bafumbira emmere mu kaabuyonjo

Capture 220x290

Abatuuze beekoledde oluguudo: Bakukkulumidde...

Abatuuze beekoledde oluguudo: Bakukkulumidde abakulembeze obutabayamba

Capture 220x290

Ssaabavvulu Balaamu akubuulira...

Ssaabavvulu Balaamu akubuulira gyenvudde we: 'Maama wange yatundanga waragi okunsomesa'

Capture 220x290

Maama wa Sizza Man anoonya mwana...

Maama wa Sizza Man anoonya mwana wa mutabani we.Yadduse ne ssente ezisukka mu kakadde

Abudabudawebusenew 220x290

Alina akawuka ka siriimu akwatibwa...

Bwe mbeera n'akawuka ka siriimu nsobola okukwatibwa endwadde z'ekikaba endala kabootongo?