TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Omutendesi wa Nkumba atabuse ku bigambibwa okubeera enkwe mu liigi ya Pepesi

Omutendesi wa Nkumba atabuse ku bigambibwa okubeera enkwe mu liigi ya Pepesi

By Musasi wa Bukedde

Added 25th April 2018

Omutendesi wa Nkumba atabuse ku bigambibwa okubeera enkwe mu liigi ya Pepesi

Nop1 703x422

Bya Gerrald Kikulwe
 
Mu University League
 
Nkumba 3-0 K.U
 
OMUTENDESI wa Kampala University Titi Kamala ayombye olw’enkwe eziri mu Pepsi University League, Nkumba bwe yabadde emenya Likodi y’obutawangula K.U okuva 2015.
 
Ku lwokubiri Nkumba yeesasuzza K.U ggoolo 3-1 nga  yeggyako ekikwa ky’obutabawangula okuva mu sizoni ya 2015 bwe baali mu kibinja ekimu K.U neebawangula ggoolo 1-0 ate ne beegwako ku Fayinolo ya sizoni y’emu era K.U newangula 3-2.
 
Bakira omupiira gugenda mu maaso ng’omutendesi wa K.U Titi Kamala ayomba obutonotono bwe yeesooza olw’abategesi ba Liigi eno okwekobaana ne Nkumba ne bagiwa abaali abayizi baabwe okulamula emipiira gyabwe ne bamaliriza nga basalirizza ttiimu Nkumba gy’ebeera ezannya nayo.

Omupiira bwe gwawedde Kamala n’alya obuwuka olw’eyabadde omuwuubi w’akatambaala Fred Musota  gw’alumiriza obwedda okubasaliriza ng’anoonyeza Nkumba ggoolo olw’okuba yali muyizi wa Yunivasite eno gye buvuddeko ekintu Kamala kye yagambye nti kittattanye omutindo gwa Liigi.

“Musota yalamula omupiira gwa Nkumba ng’ekola amaliri ga 0-0 ne St.Lawrence sizoni eno era yasaliriza aba SLU,ne leero akoze kye kimu, lwaki baddira eyali omuyizi wa Yunivasite eno ne bamuwa okuyamba ku ddifiri okutusaliriza,? Kamala bwe yeekokkodde.
 
Fred Gwoto,Hassan Kivumbi  ne Derrick Kiberu be baafunidde Nkumba obuwanguzi bwayo obusookedde ddala sizoni eno ate Johnson Eleper n’ateebera K.U nga kati bali mu kifo kya kubiri n’obubonero 4 emabega wa St.Lawrence University abakulembedde n’obubonero 7 mu kibinja B.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssekamanya00webuse 220x290

Obutabanguko mu maka bwongedde...

Omusumba eyawummula, Mathias Ssekamaanya asabye abafumbo okufunaolunaku bakubaganye ebirowoozo ku ntambula y'amaka...

Kib2 220x290

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi...

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi zikuwa obukadde 4 bw'ozikamulamu butto ? Soma emboozi y'omukenkufu

Mesachssemakulanemukyalawe 220x290

Mesach njagala mbaga

Sarah Nakkaayi mukyala w'omuyimbi Mesach Ssemakula (Golden Papa) ateze bba akamasu. Amusuddeko akabaga k'amazaalibwa...

Dit2 220x290

Noah Kiyimba asabye abakulembeze...

Noah Kiyimba asabye abakulembeze b'e Butambala okkolera awamu

Ta 220x290

Bannansi beesiga bakulembeze ba...

POLOF. Julius Kizza okuva mu yunivasite e Makerere agambye nti bannansi okumanyisibwa ebifa mu gavumenti tekubeera...