TOP

Owa rugby awangudde okulaba World Cup

By Musasi wa Bukedde

Added 26th April 2018

OMUZANNYI wa rugby, Pius Ogena asambira mabega nga jjanzi bwe yawangudde olugendo lw'okulaba empaka z'omupiira ez'ensi yonna (World Cup) ezinaayindira e Russia mu June.

Yeru 703x422

Francis Nyende owa Nile Special ng'akwasa Pius Ogena tikiti y'okulaba World Cup.

Ono y'omu ku Bannayuganda 10 abagenda okulaba World Cup 'layivu'.

Kkampuni ya Nile Breweries yataddewo akalulu bannamukisa bano mwe bagenda okuyita oluvannyuma lw’okunywa bbiya wa Nile Special.

Ogena yalondeddwa mu kalulu akaasoose ku Lwokusatu ku mukolo kwe baatongoleza kkampeyini eno eyatuumiddwa Celebrating Great World Cup Moments. Kitunzi wa Nile Special, Isaac Sekasi yategeezezza nti baakirabye nga kino kye kiseera ekituufu okuddiza ku Bannayuganda abamaze emyaka egisoba mu 20 nga babawagira.

“Bannayuganda batuwagiridde ebbanga ddene. Tetugenda kukoma ku bawagizi wabula tugenda kwongera amaanyi mu kaweefube wa Uganda Cranes okulaba ng'ezannyako mu World Cup eddako,” Sekasi bwe yagambye.

Okuyingira akalulu kano, abantu balina kuweereza mesegi erimu nnamba esangibwa mu kasaanikira ka Nile Special ku 8008. World Cup etandika nga June 14 eggwe nga July 15 e Russia.

Amawanga 32 ge gagenda okulwanira ekikopo nga Afrika yaakukiikirirwa ttiimu ttaano okuli; Nigeria, Misiri, Senegal, Morocco ne Tunisia. Girimaani y'erina ekikopo kino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lukyamuziwebuse 220x290

Mukozese ekisiibo okwezza obuggya...

Abayizi bakubiriziddwa okukozesa ekisiibo kino okwenenya olwo bafune obulamu obulungi.

Gattako 220x290

Hosni Mubarak owa Misiri yafudde...

EYALI Pulezidenti wa Misiri, munnamagye Hosni Mubarak, bannansi gwe baanaabira mu maaso ne bamumaamula ku ntebe...

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja

Muhabati 220x290

Abawanguzi ‘b‘Omuhabati ku kizinga’...

NG’EBULA ennaku mbale Bukedde TV okutwala abawagizi baayo ku bizinga e Kalangala, abantu bakyagenda mu maaso n’okwetaba...