TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Ekisaawe ky'oku Kadiba e Namirembe kyakuwemmenta obuwumbi 15

Ekisaawe ky'oku Kadiba e Namirembe kyakuwemmenta obuwumbi 15

By Musasi wa Bukedde

Added 26th April 2018

OMULIMU gw’okuzimba ekisaawe eky’omulembe ekya Kadiba mu munisipaali y’e Lubaga, gutandika essaawa yonna oluvannyuma lwa FUFA ng’eri wamu n’obulabirizi bw’e Namirembe okugutongoza.

Kisa 703x422

Ekisaawe ky'oku Kadiba nga bwe kigenda okulabika nga kiwedde.

Omukolo gw’okutongoza okuzimba ekisaawe kino ekigenda okutuuza abantu 20,000, gwakoleddwa pulezidenti wa FUFA, Moses Magogo wamu ne Vicar Rev. Festo Kalungi okuva mu Bulabirizi bw’e namirembe nga beegatitddwaako minisita Florence Nakiwala Kiyingi era emisoso gyonna egyetaagisa omulimu okutandika gyawedde.

FIFA YAWEEREZZA SSENTE

"Omulimu gugenda kutandika kubanga FIFA ensimbi yaziweerezza ne kkampuni egenda okugukola yagukwasiddwa.

Ekisaawe kigenda kuyamba Cranes mu kutendekebwa kyokka era n’abantu b’ekitundu n’eggwanga lyonna bajja kukikozesa," Magogo bwe yategeezezza.

Yayongedde nti Gianni Infantino, pulezidenti wa FIFA eyasimba ejjinja ku kisaawe kino lwe yakyala mu Uganda mu February 2017, ayagala nnyo ekisaawe kino kizimbibwe era abadde amubuuza ku buli mutendera omulimu kwe gutuuka.

Ibrahim Kabugo agenda okukulira bayinginiya abagenda okukola omulimu agamba nti kyabaliriddwa okuwemmenta obukadde bwa doola 4 n’emitwalo 40 (mu za Uganda 15, 400,000,000/-) era kisuubirwa okuggwa mu myaka ng'esatu (3).

Ng’oggyeeko ekisaawe ekirina paviriyoni ey’omulembe, kugenda kubaako ekirabo ky’emmere, ebisulo bya ttiimu, ekifo awakebererwa ebiragalalaga, jiimu ne paakingi ya mmotoka eziwera 100.

Ettaka lino lyaweebwayo obulabirizi bw’e Namirembe okuzimbako ekisaawe eky'omulembe.

Magogo awan diise oluyimba Mu ngeri y’emu, Magogo yawandiise oluyimba olwatongozeddwa ku Lwokubiri okubeera oluyimba lwa FUFA olutongole okwefaananyirizaako olwa FIFA oba CAF ezikubwa nga ttiimu ziva mu busenge.

Olwa FUFA, lwakukubibwanga ku mikolo gya FUFA ne ku fayinolo y’empaka z;omupiira zonna ezitegekebwa FUFA.

FUFA era yatongozza bendera yaayo egenda okubeera enjeru ng’erimu akabonero kaayo wakati nga nayo egenda kwewuubiranga ku ofiisi z’omupiira okwetooloola eggwanga lyonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA