TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Ogwa Vipers ne KCCA guliko n'obugombe! Villa eswamidde mu kamooli..

Ogwa Vipers ne KCCA guliko n'obugombe! Villa eswamidde mu kamooli..

By Musasi wa Bukedde

Added 27th April 2018

AKABONERO kamu kokka ke kaawula Vipers, ekulembedde Azam Uganda Premier League, ku KCCA FC, eri mu kifo ekyokusatu.

Viperscelebratefufa923509 703x422

Leero (Lwakutaano) mu Liigi;

Vipers - KCCA e Kitende 10:00

Police - Onduparaka e Namboole

Leero (Lwakutaano), ttiimu zino zisisinkanye e Kitende ku lw'e Ntebe nga ziri ku puleesa kubanga awangulwa, emikisa gye okuwangula ekikopo gikendeera kinene nnyo.

Ng’ogyeeko ekyo, omupiira guno gulimu ebikulu ebirala bisatu; 1 Vipers eyagala kwesasuza KCCA okugiwuttula ggoolo 3-1 mu gw’oluzannya olusooka e Lugogo. 2 Guno gwe mupiira KCCA FC gw'egenda okusooka okuzannyira mu kisaawe kino (St Mary's Stadium) era eyagala kuguwangula.

3 Vipers yaggya Tom Masiko mu KCCA mu kaseera we yali asinga okuyambira ttiimu ye era abakungu baayo (KCCA) ne balangira nnannyini Vipers, Lawrence Mulindwa okubayisaamu amaaso.

GUSALAWO ATWALA EKIKOPO

Ensiike eno etunuuliddwa ng’eyinza okugaba ekikopo wakati waazo ne SC Villa eri mu kyokubiri. Vipers eri ku bubonero 49 nga singa ewangula KCCA, yaakugireka obubonero 4 nga buli emu ejja kubuzaayo emipiira 5.

Vipers erabika ng'ebuzaayo ttiimu ezirabika ng'enjabayaba okuli Proline ne Kirinya Jinja (ku bugenyi) sso nga Police, Express ne UPDF ze zigenda okugikyalira e Kitende.

KCCA erina obubonero 48 nayo ebala nti bw'ewangula Vipers, erinnya ku ntikko ng'esigazza Bright Stars, Express ne Police ku bugenyi, n’okukyaza Proline ne BIDCO.

ANI ALINA ENKIZO?

Emipiira 6 Vipers gy’esembye okuzannyira mu kisaawe kyayo gyonna egiwangudde ne ggoolo nnyingi sso nga KCCA tekola bulungi ku bugenyi.

Mu mipiira 5 egisembyeyo KCCA erinamu wiini emu yokka.

Ekisenge kya Vipers kinafuko bw'okigeraageranya ku kya Villa ne KCCA.

Vipers yaakateebwa 15, KCCA (13) ate Villa 9. Wano Villa y'erina ku nkizo. Wabula KCCA ebasinga abateebi aboogi ng'erina ggoolo 42, Vipers 32 ne Villa 25.

Vipers y'esinga abazannyi ab'obumannyirivu okuli; Deus Bukenya, Ismail Watenga, Erisa Sekisambu, Yayo Lutimba, Dan Serunkuuma, Masiko, Nicolas Wadada ne Taddeo Lwanga.

KCCA yeesigamye ku bamusaayimuto, Allan Okello, Julius Poloto, Paul Mucureezi, Patrick Kaddu ne Muhammad Shaban, abatalina nnyo bumanyirivu.

ABATENDESI BAWERA

Mike Mutebi, atendeka KCCA agamba nti, "Omutindo gwe twalaze nga tuwuttula URA (7-2) gwe tutwala e Kitende.

Vipers nnungi naye tetiisa kuba si gwe gugenda okusooka okugizannya.” Miguel da Costa owa Vipers ali ku kkoligo lya mipiira ena naye omumyuka we, Edward Golola, yagambye nti “KCCA tugiwa ekitiibwa nga kyampiyoni wabula bwe tunaagenda mu kisaawe bagenda kugoba bisiikirize.”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiromayigangaalinaboogezibokumikoloabeetabyekumukologwoluwalokubulanekulwokubiri002webusenu 220x290

Katikkiro Mayiga abakubirizza okunnyikiza...

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akubirizza Ab'e Buluuli ne Ssese okunnyikiza obulimi kubanga teri mulimu...

Manya 220x290

Abakazi abasinga tebamalaamu kagoba...

Abakazi emirundi 6 ku 10 gye beegatta mu kaboozi tebatuuka ku ntikko. Wabula babuulire kwekoza nga abamazeemu akagoba....

Saalwa703422 220x290

Teddy ayanukudde Bugingo ku bya...

TEDDY Naluswa Bugingo ayanukudde bba Paasita Aloysius Bugingo ku kya ffiizi z’abaana ne ssente.

Florencekiberunabalongowebuse 220x290

Alina olubuto lw'abalongo ne by'olina...

Abasawo balaze abalina olubuto olulimu omwana asukka mu omu bye balina okukola obutabafiirwa nga tebannazaalibwa...

Research1 220x290

Ebizibu ebibeera mu kutambuliza...

ABATANDIKA omukwano ekimu ku birina okwewalibwa ku kugutambuliza mu kweteeka mu butaala ate nga si bwoli.