TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • FUFA eyongere okutereeza obukiiko obw’ebyekikugu ku ttiimu z’eggwanga

FUFA eyongere okutereeza obukiiko obw’ebyekikugu ku ttiimu z’eggwanga

By Musasi wa Bukedde

Added 29th April 2018

FUFA eyongere okutereeza obukiiko obw’ebyekikugu ku ttiimu z’eggwanga

Sem2 703x422

NKUBUULIRA ALAALI ne George Ssimwogerere

BWE nawandiika mu muko gwange emabegako nti abatendesi mu liigi yaffe abasinga ba kibogwe, nafuna amasimu mangi nnyo ng’abamu bakkiriziganya ate ng’abalala bakiwakanya.

Wabula tulina okumanya nti si buli awangula nti aba mutendesi mulungi. Mu kutendeka omupiira mulimu ebintu bingi; waliwo okugula abazannyi, okubateekateeka n’okuwangula ekikopo. Mu mbeera y’emu, waliwo okutendeka abazannyi ng’ozimba oluvannyuma n’olowooza ku kuwangula.

Waliwo okutendeka abakuze ng’okimanyi nti si baakuyigiriza wabula baakuyamba kubeera ffiiti nga basamba gwabwe nga bawangula. Express ky’ebadde ekola ng’erinda abo abatalina ndagaano ng’ebakansa ku bwereere nga bo beekolera akatale era olufuna ffoomu nga badduka. Embeera eyo teyeetaaga kutegeka nnyo kuba abazannyi baba bamanyi era ekyokulabirako kya Wenger ne Mourinho.

Wenger azimba omuzannyi yenna ng’amulabyemu ekitone oluvannyuma n’afuuka ssita era n’atandika n’okuwangula ate Mourinho ayagala gwe bamaze kutegeka naye taba na musingi. Nze ndowooza nti okutegeka kisinga nnyo okuwangula amangu.

Nzize mbawa ekyokulabirako kya Girimaani engeri gy’etegekamu ttiimu zaayo abatendesi bonna abalungi yabakwasa ttiimu z’abato okuva ku disitulikiti n’amasomero era zonna kati zikola bulungi nnyo.

Mu Uganda tumanyi abatendesi abasobola abaana ng’ekitiibwa n’obuyigirize mu mupiira babirina naye ng’obuzibu buli ku butabamanya gye bavudde. Ky’ova olaba nga nkugamba nti ab’ebyekikugu mu FUFA tebasobola kumanya basobola bintu eby’enjawulo. Somalia ekuba etya Uganda?

Eddaala ly’okukubwa Somalia twali twalivaamu dda. Kyawandiikibwa wa nti atendeka ey’abakazi alina kuba mukazi?

Oddira otya omutendesi omukazi atali ku mutindo n’omussa waggulu wa Edward Kaziba ne James Magala abakugu?

Bano bamuyigirako ki? Oba y’alina okuyigira ku bo! Yasamba ki? Ani yamutendeka? Alina bumanyirivu ki? Ttiimu y’abakazi nayo yawanduka lwa butamanya. Mbawa amagezi ttiimu muziwe abatendesi abalina obumanyirivu sso sikutunuulira ani muganzi mu FUFA.

Omupiira gwa Uganda naffe abatawagira nkola yammwe tetuyinza kulaba ng’eggwanga ligwa mu buzibu ne tusirika kuba omupiira si gwa FUFA kuba abagirimu baagusangawo era bajja kugulekawo.

Kye tuva tebawabula muleme kwonoona bye twakolerera. Mutunuulire abatendesi ba ttiimu ento zonna be batuufu? Bonna abali mu ttiimu ezo balina kuba bamyuka. Atendeka ey’abatasussa myaka 17, alina bukugu ki?

Yasambiranga wa? Atendese wa? Asomye kutuuka wa? Omutendesi w’abato alina okuba n’ebyokulabirako by’abuulira abazannyi abato ng’ate yabikolako. Abatendesi abasobola ttiimu eyo kuliko; Paul Nkata, Edward Golola, Stone Kyambadde, Matia Lule, Kaziba, Morley Byekwaso ne Baker Mbowa kuba basambye ku ddaala eddene ate basomye. georgesimlala@gmail.com 0702129092

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab2 220x290

Nnamwandu w'abaana ababiri ali...

Nnamwandu w'abaana ababiri ali mu kattu e Lwengo

Lab2 220x290

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe...

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe obuliyo

Hot2 220x290

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe...

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe bafuna

Buk2 220x290

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi...

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi 40 ez’okwekulaakulanya

Jip2 220x290

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza...

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza