TOP

Nkata yalaze obutiitiizi okusuulawo obutendesi bwa URA FC

By Musasi wa Bukedde

Added 30th April 2018

WIIKI ewedde, Paul Nkata yasuddewo obutendesi bwa URA FC amangu ddala nga KCCA ebawuttudde ggoolo 7-1 mu liigi ya babinywera. Omupiira gwabadde ku kisaawe kya KCCA e Lugogo.

Tuskercoachpaulnkata1qgkzrdss9afj1e1y3gzkx80zm 703x422

Paul Nkata eyasuddewo URA FC

KCCA ye kyampiyoni era nga yaakabubeera sizoni bbiri eziddirihhana. Mu 2016, Nkata ye yatwala engule y’obutendesi mu Kenya oluvannyuma lw’okuyamba Tusker n’ewangula liigi n’ekyokusirisizaawo mu ggwanga eryo.

Wabula yeewuunyisa bannabyamizannyo, bwe yasuulawo Tusker, evuluuja mu nsimbi, n’agenda mu Bandari FC, emu zirwanyisa okusalwako.

Mu December w’omwaka oguwedde, Bandari yamugoba ng’alemeddwa okugisitula era mu bwangu nnyo URA yamwerondera oluvannyuma lw’okugoba Ibrahim Kirya.

Olwesogga URA, Nkata yagoberawo abamu ku bazannyi abaluddemu ng’agamba nti talina ky’ajja kubongerako era yalabula abalala nti, “Atasobola kusiba bulungi mupiira na kukuba paasi yeegobe yekka.” Ensi erimu ensozi, emiseetwe n’ebikko era omusajja yenna alina okubisanga.

Nkata okudduka URA olw’okuba KCCA yabawuttudde olukunkumuli lwa ggoolo yalaze obunafu. Omusajja yenna alina kuyiiya bw’ayita mu kaseerezi.

Sir Alex Ferguson ng’akyatendeka ManU, yawuttulwa Man City (6-1) ku Old Trafford. Wenger, agenda okwabulira Arsenal, yatimpulwako ManU (8-2), Mourinho, kati ali mu ManU, ng’ali mu Real Madrid yawuttulwa Barcelona (5-0).

Guardiola, eyawangulidde Man City ekikopo, ng’ali mu Bayern, yatimpulwa Barcelona (4-0) mu Champions League.

Mike Mutebi, atendeka KCCA kati, yali mu mitambo gya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 23 (Kobs) n’ewuttulwa Nigeria (8-1) mu mizannyo gy’Afrika e Zimbabwe mu 1991.

Abatendesi abo be mmenye tebaasuulawo mirimu wabula beefunyirira ku kuzuula ensobi ne balongoosa amannya gaabwe.

Kati bonna bassibwamu ekitiibwa. Buli mulimu gulimu ebizibu naye bw’obisanga n’obidduka obeera mutiitiizi era oswaza abaakusomesa. Nkata aswazizza abaamusomesa obutendesi kuba si y’asoose okuwuttulwa olukunkumuli lwa ggoolo.

Omusajja yenna tasuubira kusanga bulamu bwa museetwe.

kkawuma@newvision.co.ug 0772371990

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri...

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri kivuddeyo ku bye bbibiro lya Murchion Falls

Afiiriddemukkanisa3 220x290

Afiiridde mu kkanisa

Poliisi y’ekitundu ereese kabangali okutwalirako omulambo mu ggwanika kyokka abagoberezi ne bagiremesa nga bagamba...

Dsc8388 220x290

Weewale okukuba endobo mu mmotoka...

N (Neutral) baagiteeka mu mmotoka si kugikozesa kukuba ndobo wabula kwawula D (Drive) ne R (Reverse).

Abasubuuzingabatunuliraemaaliyabweeyayidde2 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ekibanda...

Bano balumiriza omukulu w’essomero lya Biral P/S, Tekana Bruhan erisangibwa e Bwaise okuba emabega w’okwokya ekibanda...

Lop2 220x290

Ssebo Square Milez omukono teguwaba...

Ssebo Square Milez omukono teguwaba