TOP

Ttiimu za University League zitolotooma

By Musasi wa Bukedde

Added 1st May 2018

NGA liigi ya yunivasite yakawummula ekitundu kya sizoni ekisooka, ttiimu ezeetabyemu ziyomba olw’engeri etteeka erikugira abawezezza emyaka 25 okuzannya mu liigi eno gye libakosezzaamu.

Abazannyibankumbamugwasooka 703x422

Abazannyi ba Nkuba nga bawaga

Bya GERALD KIKULWE 

NGA  liigi ya yunivasite yakawummula ekitundu kya sizoni ekisooka, ttiimu ezeetabyemu ziyomba olw’engeri etteeka erikugira abawezezza emyaka 25 okuzannya mu liigi eno gye libakosezzaamu.

Bwe yali ebula wiiki bbiri sizoni ya 2018 Pepsi University League okuggyibwako akawuuwo,akakiiko akaddukanya empaka zino k’avaayo n’etteeka erigaana buli muyizi  wa Yunivasite eyazaalibwa oluvannyuma lwa January 1, 1993 okuzannya mu mpaka zino.

Kino  kyaleetawo okutaataganya mu bazannyi ttiimu be zaali zimaze okukolera Layisensi n’okuwandiisa ng’abagenda okuyamba ttiimu zaabwe okukola obulungi sizoni eno olwo ne bamaliriza nga bazze mu kulonderera abo be baali basudde ebbali olw’obutabeera na bumanyirivu.

Joseph Muyiira Maneja wa Nkumba Univasite agamba nti ttiimu enene mu Liigi eno zonna zikoze bubi ekitundu ekisooka olw’abasambi be baasalako ku ssaawa esembayo.

“Ssi simbira kkuuli  tteeka lino naye baalireeta kikeerezi nga tumaze okulonda abazannyi be tugenda okukozesa, kino kiraga obunafu mu nzirukanya Liigi,bandibadde batutegeeza ku nkomerero ya sizoni ewedde,” Muyiira bwe yeemulugunyizza.

Muyiira agattako nti abazannyi be baafirwa okuli Ronald Obere, Edmond Wambokka, Isaac Otto, Henry Kawuma, Joseph Yiga n’abalala, baakuba eddibu ddene mu ttiimu ky’asuubira nti kyakosa ne Yunivasite endala.

Anthony Tumwesigye Maneja wa Liigi ya Yunivasite agamba nti etteeka lino teryaggya kikeerezi,Yunivasite liigi etambulira ku mutindo gw’e nsi yonna,ttiimu zeekwasa bwekwasa  kuba kino kyakolebwa okuwa omukisa ebitone ebito okusinga abakadde okwefuga Liigi.

Liigi yawummudde okutuusa mu August wabula yunivasite nga Nkumba,MUBS, K.U, KIU ne Gulu ezirudde mu liigi eno zonna zikoze bubi ekitundu ekisoose.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....