TOP

Express bw’emegga URA eddira ddala mu ‘kintu’

By Musasi wa Bukedde

Added 5th May 2018

ABAWAGIZI ba Express beenyumiriza mu Sam Ssimbwa kuba yabawangulira ekikopo kya liigi kye bakyasembyeyo okukwatako. Leero ku Lwomukaaga, baakumusimba amaaso, okulaba oba asobola okugyekyusiza n’agikuba omusumaali ogugizza mu Big League.

20136largeimg223jun2013023751620703422 703x422

URA - Express, Namboole 10:00

Ssimbwa mu kaseera kano, y’atendeka URA egenda okuttunka ne Express e Namboole mu Azam Uganda Premier League.

Omupiira guno mukulu nnyo eri ttiimu zombi kuba Ssimbwa ayagala wiini ye esooka kuba gwe yasoose okubeera mu mitambo gya URA, yagudde maliri ne Onduparaka (0-0).

Ku ludda lwa Express, buli mupiira eguzannya nga fayinolo kuba erwanyisa kyambe. Kyokka Ssimbwa ye yataasa Express eyali mu mbeera y’emu mu sizoni ya 2006/2007 n’agitereeza.

Oluvannyuma yagyabulira n’akomawo mu sizoni ya 2011/2012 n’agiwangulira liigi oluvannyuma lw’emyaka 5 era n’afuuka muganzi eri abawagizi.

Ku luno, Ssimbwa yaakaweebwa omulimu gwa URA nayo eyeetaaga wiini. URA eri mu kifo kya 10 ku bubonero 32 ate Express ya 13 ku bubonero 26.

Express eneekozesa bukodyo okuwangula oba URA egenda kugikuba omupiira? Byonna bya leero ku Lwomukaaga mu mupiira gwa liigi.

EXPRESS NSANYUFU

Express erina ku ssanyu olwa FUFA okusala ku UPDF obubonero 3 olw’okuzannyisa Sulaiman Majanjalo eyali ku kkoligo lya kaadi bwe baali bazannya BIDCO.

Kino kyayambye Express okuva mu ttiimu essatu eziri mu bifo ebisalwako n’edda mu kifo kya 13 nga singa ewangula guno, eddira ddala mu ‘kintu’ kuba eba eriivula Soana mu kifo kya 12 (singa eba ekubiddwa Onduparaka).

George Nsimbe atendeka Express yategeezezza nti wadde URA bagirumba Namboole, buli mupiira baakuguzannya nga fayinolo era guno bagwetaagamu obubonero 3.

“Tugenda kulwana tufune obuwanguzi ku URA kuba kye kitutaasa kyokka,” Nsimbe bwe yagambye.

Express yasembye kuwangulwa KCCA (2-1) ate URA n’eremagana ne Onduparaka (0-0).

EBYAFAAYO BIWA URA EKIZO

Emipiira 11 egisembye nga ttiimu zino zisisinkanye, URA ewangudeko 5 n’eremagana 4 ne bagikuba 2 ekitegeeza nti Express erina okwerwanako bw’eba yaakuwangula.

Wabula mu kaseera kano, URA ekola bubi, mu mipiira 10 ekubiddwa 5 (okuli KCCA eyagiwuttudde ggoolo 7-2), amaliri 3 n’ewangulayo 2.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazi 220x290

Eyandesa omulimu ansuddewo

NZE Mediatrice Kubwimana 28, nzaalibwa Burundi naye nga mbeera Namugongo Zooni II. Mu 2011, nafuna omulimu gw’obwayaaya...

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...