TOP

SC Villa bagitimpudde abatendesi ne bayomba

By Musasi wa Bukedde

Added 7th May 2018

EMIKISA gya SC Villa okusitukira mu liigi ya sizoni eno gyeyongedde okusannyalala UPDF bwe yagikubye n’abatendesi n’abatendesi baayo ne batandika okusojjagana.

Scvilla1 703x422

Bya HUSSEIN BUKENYA

Mbarara City 1-1 Proline FC

Kirinya Jinja 1-1 Masavu FC

Soana 0-1 Onduparaka FC

URA 1-1 Express

UPDF 1-0 SC Villa

EMIKISA gya SC Villa okusitukira mu liigi ya sizoni eno gyeyongedde okusannyalala UPDF bwe yagikubye n’abatendesi n’abatendesi baayo ne batandika okusojjagana.

Wasswa Bbosa n’omumuyuka we Paul Mukatabala buli omu alumirizza munne okuba ow’enkwe.

Kino kyaddiridde UPDF okukuba Villa (1-0) ku Lwomukaaga e Bombo, Bbosa n’alangira Mukatabakala okumulemesa okuwangula ekikopo mu bugenderevu nti bakira amuwa ebiragiro ng’amutunula mu mutwe.

Ng’omupiira guwedde, Bbosa yalumbye Mukatabala n’amulumiriza okuba ow’enkwe wakati mu bantu nti bulijjo atya okumugamba wabula ku luno kyamuyitiriddeko era bw’atakyusa si waakudaamu kukola naye.

“Twabadde twetaaga okukyusa mu ttiimu wabula naweerezza Mukatabala obubaka omwabadde abazannyi abalina okujja ne bakyusa omuzannyo kyokka yanzimudde buziimuuzi,” Bbosa bwe yagambye.

Ye Mukatabala yagambye nti yeewuunya okulaba nga Bbosa gw’atwala nga muganda we yavuddemu ebigambo bwe bityo.

“Okuva mu November babadde bang’amba nti annimirira mu bakama bange nga bwe mmuyeekera kyokka ng’abyegaana. Bino mbikooye kuba teyeewa kitiibwa ayomba ne mu bantu,” Mukatabala bwe yazzizza omuliro.

Embeera eno w’etuukiddewo nga Villa eri mu kaweefube wa kuwangula kikopo. Vipers ebasinga obubonero 5.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

A1 220x290

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral...

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral & Cocktail Party’ e Munyonyo ebyana gye byalagidde emisono n’emibiri nga bwe balya...

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.

Tege 220x290

Kyokka mwana ggwe Lydia Jazmine!...

MWANAMUWALA Lydia Jazmine abamu gwe bayita muninkini wa gundi yamalayo. Akola bimusanyusa nga tafuddeyo ku bantu...

Kuba 220x290

Eyagaba abalongo bange yantamya...

NZE Charles Adwor, mbeera Mukono. Nasisinkana munnange mu 2014 nga nkyabeera e Jinja. Ebiseera ebyo nalina omulimu...

Melon1 220x290

Weyune enkola ya kontulakiti ofunemu...

OKUKOLA kontulakiti n’omuguzi y’emu ku ngeri omulimi n’omulunzi mw’asobola okuyita okufuna akatale k’ebintu bye...