TOP

Vipers evumbedde KCCA n'esembera

By Musasi wa Bukedde

Added 9th May 2018

OLUTALO lw'okuwangula liigi ya babinywera lweyongedde eggulo, Vipers SC ekulembedde, bwe yasudde obubonero n'eyongera KCCA FC ne SC Villa ekyanya.

Viperscelebratefufa923509 703x422

KCCA FC 2-0 Proline

URA FC 1-1 Masavu

Kirinya 1-1 Vipers

Vipers yavudde mabega okulemagana ne Kirinya Jinja SS (1-1) e Bugembe sso nga KCCA yawangudde Proline (2-0) n'eriivula Villa mu kyokubiri.

Vipers yasigadde ku ntikko n'obubonero 59 mu mipiira 28 sso nga KCCA erina 54 ne Villa 53 mu mipiira 27.

Okuwangula ekikopo, Vipers yeetaaga okuwangula emipiira ebiri gy'esigazza (Express ne UPDF) nga gyombi giri ku butaka bwayo e Kitende.

Faisal Kiwawulo yateebedde Kirinya e Bugembe mu kitundu ekisooka kyokka Moses Waiswa n'anywesa eya Vipers mu ekyokubiri.

E Lugogo, Proline ya Mujib Kasule yasemberedde okusalwako bwe yakubiddwa KCCA (2-0) nga Mohammad Shaban ne Derrick Nsibambi be baateebye.

Proline yeevumye Gift Ali, Dan Isiagi ne Joseph Mandela abaalemeddwa emikisa gya ggoolo mu kitundu ekisooka.

E Namboole, URA ya Sam Ssimbwa yalemaganye (0-0) ne Masavu FC, ekoobedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det23 220x290

Ennyonja y’emmotoka etangira Coronavirus...

Ennyonja y’emmotoka etangira Coronavirus

Tap22 220x290

Abasomesa abatali ba Pulofeesa...

Abasomesa abatali ba Pulofeesa ku yunivasite bawadde obukwakkulizo

Lab15 220x290

Okukuza olunaku lw’abajulizi, June...

Okukuza olunaku lw’abajulizi, June 3

Kit1 220x290

Batutte omulambo ku disitulikiti...

Batutte omulambo ku disitulikiti lwa kubamma bbaluwa

Kit1 220x290

Omuzungu eyasobya ku atanneetuuka...

Omuzungu eyasobya ku atanneetuuka akwasizza abazadde