TOP

Omugagga Bryan White ayongedde ebbugumu mu mipiira gy'ebika

By Musasi wa Bukedde

Added 9th May 2018

Omugagga Bryan White ayongedde ebbugumu mu mipiira gy'ebika

Br1 703x422

Katikkiro ku kkono ate mu makkati ye Bryan White ne Dr Jose Chameleon nga bali e Mmengo olwaleero

Bya Joseph Zziwa

EMPAKA z’emipiira gy’ebika by’Abaganda zeyongedde okuyiikamu ebbugumu oluvannyuma lw’omugagga Brian Kirumira amannyiddwa nga Bryan White okuwaayo obukadde 10 n’emipiira 100 biyambeko ttiimu mu nteekateeka zino.

Bino bibaddewo leero mu bimuli bya Bulange ku mukolo katikkiro ow’ekitiibwa Charles Peter Mayiga mwatongolezza empaka zino, z’etabiddwako minisita w’eby’emizannyo n’okwewummuza mu Buganda Henry Ssekabembe,minisita w’ebyamawulire Noah Kiyimba,abataka b’ebika eby’enjawulo kwossa n’abaddukanya ttiimu, banna katemba n’abayimbi ab’egattira mu kibiina kya Brian White Foundation nga bano babadde bakulembeddwa Joseph Maynja amanyiddwa nga Jose Chameleon.

Mayiga ategeezezza nti empaka zino zatandika mu mirembe gya Ssekabaka Edward Muteesa ow’okubiri nga zakomezebwawo Ssabasajja kabaka Ronald Muwenda Mutebi ow’okubiri mu 1986,ono ategeezezza nti zino zaakola kyamaanyi mu kutumbula obumu mu Buganda kwossa n’okukuumira Buganda ku ntikko paka kati.

Katikiro asabye abo bonna ab’etaba mu mpaka zino okubeera n’obwagazi,obunyiikizu kwossa n’obwerufu kyokka si mumupiira mwokka wabula mu buli kye bakola olwo lwe baggya okutuuka ku biruubirirwa.

Ono yebazizza omuyimbi Jose Chameleoan ne banne okuyimba ennyimba ezitakoma kunyuma wabula n’okusomesa era n’abakuutira amaanyi obutagassa mu kunoonya tutumu wabula bagasse mu byebakola obumanyifu buggya kubanoonya.

Oluvannyuma atongozza ebika kwossa n’okuwa buli kika emipiira ebiri era n’akunga abazzukulu bonna okweyiwa ku kisaawe kya St Marys e Kitende ku lw’omukaaga nga Omutanda aggulawo empaka zino

Ye Brian White asabye Katikiro okumukkiriza okwetaba mu nteekateka za Buganda ez’okuzimba abavubuka era n’asuubuza okudduukiriranga buli mulanga gwa Buganda,ono olabiddwako ng’akwasa omukulu w’ekika ky’Engeye Hajji Muhamood Kibirige Muyinge bandaali ya ssente era neyeyama okwongera okuyamba ttiimu.

Okwawukanako n’empaka eziyise,ku luno omuwanguzi omuwanguzi wakutwala ensimbi obukadde bwa Uganda 15 nga zateekwawo ssentebe omupya Hajji Sulayiman Magala n’omumyuka we Michael Kironde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det23 220x290

Ennyonja y’emmotoka etangira Coronavirus...

Ennyonja y’emmotoka etangira Coronavirus

Tap22 220x290

Abasomesa abatali ba Pulofeesa...

Abasomesa abatali ba Pulofeesa ku yunivasite bawadde obukwakkulizo

Lab15 220x290

Okukuza olunaku lw’abajulizi, June...

Okukuza olunaku lw’abajulizi, June 3

Kit1 220x290

Batutte omulambo ku disitulikiti...

Batutte omulambo ku disitulikiti lwa kubamma bbaluwa

Kit1 220x290

Omuzungu eyasobya ku atanneetuuka...

Omuzungu eyasobya ku atanneetuuka akwasizza abazadde