TOP

Liigi ya Basketball etojjera

By Musasi wa Bukedde

Added 11th May 2018

TTIIMU ya City Oilers abalina ekikopo kya sizoni ewedde mu National Basketball League (NBL) beebugira kya sizoni eno ku kyeddiza omulundi gwa 6.

Cityoilersngabajaganyaoluvannyumalwokuwangulaekikopoekyo5 703x422

Aba City Oilers nga bajaganya oluvannyuma Lw'okuwangula sizoni ewewdde

Bya GERALD KIKULWE 

Egiggulawo FUBA NBL

Mu baami;

City Oilers – Betway Powers

Charging Rhino – JKL Dolphins

KCCA – KIU Taitans

Our Saviour – Sharing Youth

ABAKYALA

Jovan Ladies – Nkumba Lady Marines

UMU Ravens – JKL Lady Dolphins

Liigi y’eggwanga eya Basketball (Abaami n’akyala)eddamu enkya (Lwamukaaga) mu MTN Arena Lugogo nga City Oilers bannantameggwa ba Liigi eno mu baami emirundi 5 egy’omudiringanwa baggulawo ne Betway Powers.

Mandy Juruni omutendesi wa City Oilers ayogera akimba nga bwe batalina Puleesa yonna kuba eno liigi baagyefunza era beetegefu n’okukirawo.

“Guno  gwe muzannyo gwe tusinga okutegeera wano mu ggwanga y’ensonga lwaki buli mwaka tukulembera abalala ne bagoberera ate ku luno tuggya na nkuba mpya,” Juruni bwe yategeezezza.

City Oilers mu 2017 yakuba KIU Titans Falcons ku Fayinolo,2016 yakuba Betway Powers,2015 yaggyamu UCU Canons,2014 n’ekuba Tiger Head Power ate 2013 yaggyamu Falcons.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip2 220x290

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu...

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu ggiya

Set1 220x290

Museveni awabudde ku nteekateeka...

Museveni awabudde ku nteekateeka y’ettaka eneegaggawaza Bannayuganda

Tip2 220x290

Abbye abaana babiri n’abatwalira...

Abbye abaana babiri n’abatwalira muganzi we

Top2 220x290

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso...

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso e South Africa annyonnyodde

Nem1 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okkozesaamu empirivuma okulongoosa omutima n'okugumya ebinywa...