TOP
  • Home
  • Mupiira
  • KCCA tetiisa wabula baddiifiri - Al Ahly

KCCA tetiisa wabula baddiifiri - Al Ahly

By Moses Kigongo

Added 15th May 2018

OMUTENDESI wa KCCA FC, Mike Mutebi akoowodde Bannayuganda okugenda mu bungi e Namboole bawagire ttiimu ye ng’ettunka ne Al Ahly eya Misiri olwaleero.

Zaza 703x422

Abazannyi ba Al Ahly nga babuguma eggulo mu kutendekebwa e Namboole.

Leero mu z’Afrika (10:00);

KCCA FC - Al Ahly (Misiri)

EBISALE; 10,000/-, 20,000/-, 50,000/- ne 100,000

Basisinkanye mu mpaka za ‘Total CAF Champions League’ nga buli ttiimu enoonya buwanguzi obusooka mu kibinja ekikulembeddwa Township Rollers eya Botswana ku bubonero 3.

Al Ahly ne Esperance eya Tunisia balina akabonero kamu ate KCCA (0).

Mu lukiiko lw’abaamawulire eggulo e Namboole, Mutebi yagambye nti Al Ahly ya linnya naye KCCA erina obusobozi obugimegga olw’abazannyi abato abekkiririzaamu.

“Edda, kiraabu za Uganda zaagendanga okuyingira ekisaawe nga zaatidde dda ttiimu z’Abawarabu, ekyazikubyanga. Kati ebyo byaggwaawo dda,” Mutebi bwe yategeezezza eggulo.

Yagasseeko nti, “Abazannyi abato be nnina nga Allan Okello, Julius Poloto ne Mustafa Kiiza bekkiririzaamu kubanga babadde ku ttiimu y’eggwanga ate abamu bazannye ku mpaka zino. Bajja kukola kye twagala.”

OWA MISIRI ATIDDE

Ye omutendesi wa Al Ahly, Hossam El Badry yakkiriza nti KCCA kati ya maanyi olw’omupiira gw’Afrika okweyongera okukula n’agattako nti, “Tujja kufuna obuwanguzi singa omupiira guno gunaalamulwa mu bwenkanya.”

Yakkaatirizza nti obwenkanya kintu kikulu nnyo mu mupiira era singa bunaagobererwa tewali kigenda kubalemesa kufuna buwanguzi ku KCCA.

Yagambye nti KCCA bagimanyi bulungi kubanga bazze bagigoberera okuviira ddala mu liigi wamu n’omupiira gwa Township Rollers.

BULI OMU ANOONYA BUWANGUZI

KCCA ne Al Ahly buli omu ayigga buwanguzi obusooka mu kibinja kino ekikulembeddwa Township Rollers eya Botswana.

Mu gyaggulawo ekibinja, KCCA yakubwa Township Rollers (1-0) e Gaborone ate Al Ahly yalemagana (1-1) ne Esperance eya Tunisia e Cairo. Sizoni ewedde, KCCA teyawangulirwako ku butaka kyokka era yakubwa emipiira gyonna ku bugenyi.

Omupiira gwa leero gugisanze mu kyakubiri mu liigi ya babinywera nga yasembyeyo kuwangula Kirinya Jinja SS (1-0) e Bugembe mu Jinja.

Al Ahly, kirimaanyi mu Afrika nga yakubwa Wydad Cassablanca eya Morocco ku fayinolo sizoni ewedde.

Al Ahly y’erina likodi y’okuwangula empaka zino emirundi emingi (8) nga lwe yasemba okukyala mu Uganda, yalemagana (0-0) ne SC Villa kyokka n’ewangula 6-0 e Cairo.

 

 

“Edda, kiraabu za Uganda zaagendanga okuyingira ekisaawe nga zaatidde dda ttiimu z’Abawarabu, ekyazikubyanga. Kati ebyo byaggwaawo dda,” Mutebi bwe yategeezezza eggulo. Yagasseeko nti, “Abazannyi abato be nnina nga Allan Okello, Julius Poloto ne Mustafa Kiiza bekkiririzaamu kubanga babadde ku ttiimu y’eggwanga ate abamu bazannye ku mpaka zino. Bajja kukola kye twagala.” OWA MISIRI ATIDDE Ye omutendesi wa Al Ahly, Hossam El Badry yakkiriza nti KCCA kati ya maanyi olw’omupiira gw’Afrika okweyongera okukula n’agattako nti, “Tujja kufuna obuwanguzi singa omupiira guno gunaalamulwa mu bwenkanya.” Yakkaatirizza nti obwenkanya kintu kikulu nnyo mu mupiira era singa bunaagobererwa tewali kigenda kubalemesa kufuna buwanguzi ku KCCA. Yagambye nti KCCA bagimanyi bulungi kubanga bazze bagigoberera okuviira ddala mu liigi wamu n’omupiira gwa Township Rollers. BULI OMU ANOONYA BUWANGUZI KCCA ne Al Ahly buli omu ayigga buwanguzi obusooka mu kibinja kino ekikulembeddwa Township Rollers eya Botswana. Mu gyaggulawo ekibinja, KCCA yakubwa Township Rollers (1-0) e Gaborone ate Al Ahly yalemagana (1-1) ne Esperance eya Tunisia e Cairo. Sizoni ewedde, KCCA teyawangulirwako ku butaka kyokka era yakubwa emipiira gyonna ku bugenyi. Omupiira gwa leero gugisanze mu kyakubiri mu liigi ya babinywera nga yasembyeyo kuwangula Kirinya Jinja SS (1-0) e Bugembe mu Jinja. Al Ahly, kirimaanyi mu Afrika nga yakubwa Wydad Cassablanca eya Morocco ku fayinolo sizoni ewedde. Al Ahly y’erina likodi y’okuwangula empaka zino emirundi emingi (8) nga lwe yasemba okukyala mu Uganda, yalemagana (0-0) ne SC Villa kyokka n’ewangula 6-0 e Cairo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bobiwineatmagere 220x290

Bobi Wine ayogedde ku ngeri gye...

" Akawungeezi ka Mmande nnabadde mu kisenge kya wooteeri mwensula ne mpulira abantu nga bagamba ggulawo kyokka...

Long1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YAFULUMYE...

Bobi Wine, mukazi we amutunuddeko e Makindye gy’akuumirwa n’azirika olw’embeera gy’alimu. Omubaka Zaake bamuleese...

Candia 220x290

Nnannyini wooteeri ya Pacific e...

NANNYINI wooteeri ya Pacific Hotel mu kibuga Arua asambazze ebyayogeddwa poliisi nti emmundu ez’ekika kya SMG ebbiri...

Genda1 220x290

Baka balamu bange bannemesezza...

NZE Shifrah Nalwadda 25. Mu 2016 omusajja ayitibwa Akim yankwana era nange ne musiima ne mmukkiriza n’antwala ewuwe...

K3 220x290

Ab'e Kamwokya bazzeemu okwekalakaasa:...

Ab'e Kamwokya bazzeemu okwekalakaasa: Baagala Bobi Wine ayimbulwe