TOP

Al Ahly etuuyanidde e Namboole

By Musasi wa Bukedde

Added 16th May 2018

ENDUULU y’abawagizi ba KCCA FC yasaanikidde Namboole olwa ggoolo Saddam Juma gye yateebedde ttiimu ye nga bawangula Al Ahly eya Misiri (2-0) mu CAF Champions League eggulo.

3254884922133602186817427407823647835947008n 703x422

KCCA 2-0 Al Ahly (Egypt)

Ggoolo eno yateebeddwa mu ddakiika ey’e 72 kyokka teyakomye kuyamba KCCA kukulembera mupiira guno, wabula yabadde makula kuba Sadam Juma yasindiridde ennyanda omupiira ne guyita ku mukwasi wa ggoolo ya Al Ahly ng’essasi ne gutoola akatimba.

Ggoolo eyeefaananyirizaako bweti era Saddam ye yakuba FUS Rabat mu mpaka ze zimu omwaka oguwedde e Lugogo mu mupiira gwe ogwasooka nga yakeegatta ku KCCA.

Nga bamaze okuteeba, omutendesi wa KCCA, Mike Mutebi yakizudde ng’abazannyi ba Al Ahly bwe bakooye n’aggyamu Muhammad Shaban gwe yasikizza Paul Mucureezi era yabadde yakaamalamu eddakiika mbale ne bafuna ggoolo eyookubiri eyamaze eggobe mu kibya.

Eno, Timothy Awany ye yagiteebye ng’ayita mu kusimula peneti oluvannyuma lwa Saad Samir eyabadde mu kisenge kya Al Ahly okutomera Derrick Nsibambi mu bbookisi.

Al Ahly, abakyasinze ebyafaayo ebirungi mu ttiimu z’Afrika, baagutandise bulungi era mu ddakiika y’e 22, baafunye peneti kyokka Charles Lukwago eyabadde mu ggoolo ya KCCA FC n’agikwata.

Al Ahly yazzeemu okunyigiriza era mu ddakiika ya 31, Marwan Mohsen yafunye omukisa oguteeba wabula omupiira yagutuuseeko kikeerezi nga Lukwago agukutte.

Yayongedde okusamba omupiira gwayo ogwokulabagana nga bwe beetala ekisaawe kyokka ng’enzannya yaayo y’akimpoowooze ekyawadde KCCA amaanyi.

Al Ahly yatuuka ku fayinolo y’empaka zino omwaka oguwedde kwe yakubirwa Wydad Cassablanca ate ng’ekikopo kino yaakakiwangula emirundi emingi (8). Mu kibinja kye balimu, kati Al Ahly y’ekoobedde.

Mutebi yatenderezza omutindo ttiimu ye gwe yazannyiddeko n’ategeeza nti omwaka guno tebagenda kwetaba bwetabi mu mpaka zino wabula bateekwa okuva mu kibinja. KCCA yewezezza obubonero 3.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip1 220x290

Abadde ayagala okuziika ssanduuku...

Abadde ayagala okuziika ssanduuku y'omufu enkalu asimattuse okugajambulwa abakungubazi

Kat3 220x290

Katikkiro Mayiga akunze abantu...

Katikkiro Mayiga akunze abantu okujjumbira omulimu gw'okuzimba eddwaliro ly'e Nkozi

Rep1 220x290

Ebya Federo ne regional tier bikomyewo...

Ebya Federo ne regional tier bikomyewo mu palamenti

Kat1 220x290

Gavumenti egenda kusengula abantu...

Gavumenti egenda kusengula abantu 6000 okuva e Bududa

Pob1 220x290

Gav't ekakasizza emisolo ku takisi...

Gav't ekakasizza emisolo ku takisi ne bbaasi