TOP

Cranes yaakwegezaamu ne Niger ne Central African Republic

By Stephen Mayamba

Added 16th May 2018

UGANDA Cranes yaakuzannya egy’okwegezaamu ebiri ne Niger ne Central African Republic bw'enaakuba enkambi ey’enjawulo etegekeddwa okuyamba omutendesi Sebastien Desabre okwongera okwetegereza abazannyi b'asuubira okukozesa mu gy’okusunsulamu egy’empaka za Africa ez’akamalirizo eza AFCON 2019.

Cranes1 703x422

Omutendesi wa Cranes, Sebastien Dessabre afulumizza olukalall lw'abazannyi b'atwala mu nkambi e Niger ttiimu gy'egenda okuzannyira emipiira ebiri egy'okwegezaamu. (STEPHEN MAYAMBA)

Enkya ya leero (Lwakusatu) Desabre afulumizza olukalala lw’abazannyi 23 nga kuliko Bapulofeesono 17 n’abaguzannyira awaka 6 b'agenda okukozesa mu mipiira egisooka ebiri ne Niger wamu ne Central African Republic wakati wa May 27 ne June nga 3. 

Uganda erina emipiira ena wakati wa September ne November mu z’okusunsulamu za AFCON 2019 mw'egenda okukyaliza Tanzania ne Lesotho egy’omuddiringanwa ezzeeko okukyalira Lesotho nga tennakyaza Cape Verde.

Ogwali ogw’okukyalira Tanzania mu March ne guggyibwayo tegunnafunirwa lunaku. 

Ttiimu eyayitiddwa mu bujjuvu;  Denis Onyango, Charles Lukwago, Jamal Salim, Denis Iguma, Nicholas Wadada, Murushid Jjuko, Bevis Mugabi, Timothy Awanyi, Geofrey Walusimbi, Isaac Muleme, Joseph Ochaya, Hassan Wasswa, Khalid Aucho,  Taddeo Lwanga, Luwagga Kizito, Milton Karisa, Allan Kateregga, Faruku Miya, Moses Opondo, Emmanuel Okwi, Yunus Sentamu, Edrisa Lubega ne Mohammad Shaban.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bobiwineatmagere 220x290

Bobi Wine ayogedde ku ngeri gye...

" Akawungeezi ka Mmande nnabadde mu kisenge kya wooteeri mwensula ne mpulira abantu nga bagamba ggulawo kyokka...

Long1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YAFULUMYE...

Bobi Wine, mukazi we amutunuddeko e Makindye gy’akuumirwa n’azirika olw’embeera gy’alimu. Omubaka Zaake bamuleese...

Candia 220x290

Nnannyini wooteeri ya Pacific e...

NANNYINI wooteeri ya Pacific Hotel mu kibuga Arua asambazze ebyayogeddwa poliisi nti emmundu ez’ekika kya SMG ebbiri...

Genda1 220x290

Baka balamu bange bannemesezza...

NZE Shifrah Nalwadda 25. Mu 2016 omusajja ayitibwa Akim yankwana era nange ne musiima ne mmukkiriza n’antwala ewuwe...

K3 220x290

Ab'e Kamwokya bazzeemu okwekalakaasa:...

Ab'e Kamwokya bazzeemu okwekalakaasa: Baagala Bobi Wine ayimbulwe