TOP

Bassita b'Afrika 10 abasuubirwa okwaka mu World Cup

By Musasi wa Bukedde

Added 20th May 2018

ENSI ttaano ze zigenda okukiikirira Afrika mu World Cup e Russia. Nigeria, Misiri, Senegal, Tunisia ne Morocco ze zikiikiridde Afrika naye ekibuuzo kiri nti ssita wa nsi ki anaasinga okwaka? GERALD KIKULWE abakukubiddemu ttooci;

Telemmglpict000163415964transnvbqzqnjv4bqahd63lw3lgv45ug3tlonfoghosq32iexbhnajujiw 703x422

Muhammad Salah owa Egypt ne Liverpool

1. Mohamed Salah (Misiri); Ono y’alina engule y’omuzannyi w’Afrika ow’omwaka, ye muzannyi eyasinze mu Premier ate nga era ye yasinze okuteeba. Buli muntu alinze alabe oba ffoomu kw’azannyidde Premier gy’anaaleeta mu World Cup. Ssita wa Liverpool ono yagituusizza ne ku fayinolo ya Champions League gy’ebadde emaze emyaka 11 nga tetuukako. Si Misiri yokka wabula Afrika n’ensi yonna etunuulidde Salah okulaba ng’ayaka kuba bamutunuulidde okusitukira mu ngule y’omuzannyi w’ensi yonna. Yaakateebera Liverpool ggoolo 43 mu mipiira 51 sizoni eno ate Misiri bwe yali mu z’okusunsulamu, yabateebera 5.

2. Sadio Mane 26 (Senegal); Azannyidde Liverpool sizoni bbiri okuva bwe baamugula mu Southampton era olw’omutindo gw’abaddeko sizoni eno, bamusuubira n’okuguleeta ne mu World Cup. Wadde Mane sizoni ewedde yalemwa okuwangulira eggwanga lye ekikopo ky’Afrika, bannansi bamutunuulidde ng’omununuzi agenda okukola ebyamagero e Russia. Waliwo abamulabira mu kifaananyi kya El Hadji Diouf eyakola erinnya mu World Cup ya 2002. Mane amaze okukasa ensi nti muzannyi mulungi era ggoolo 19 ze yaakateeba sizoni eno, kw’ayagala okwongereza eza World Cup.

3. Victor Moses (Nigeria); Ssita wa Chelsea ono alina obumanyirivu ku y’eggwanga era yabawangulira eky’Afrika mu 2013. Y’omu ku bazannyi Nigeria b’egenda okwesigamako e Russia. Wadde nga mu Chelsea batera kumuzannyisa mu kisenge, bwe bamuwa ennamba z’omu maaso ku y’eggwanga akola bulungi era omutendesi we Gernot Rohr amulinamu obwesige. Yalondeddwa ng'omuzannyi asinze mu 2017/18 e Nigeria. Ey’eggwanga agizannyidde emipiira 29 n’agiteebera ggoolo 11.

4. Mehdi Benatia (Morocco); Omuzibizi wa Juventus ono yali mpagiruwaga ku ya Morocco. Y’omu ku baateeba ggoolo ezaabayisaawo bwe baali bakuba Ivory Coast (2-0) ne bayitamu omulundi ogusoose mu myaka 20. Obumanyirivu bwe mu kisenge, busuubirwa okwesigamwako ennyo okutangira ggoolo okunywa. Obumanyirivu bwe yakozesa Morocco n’etateebwamu mu z’okusunsulamu, bamulinamu essuubi nti ajja kubeera lwazi ne mu World Cup e Russia.

5. Youssef Msakni (Tunisia); Ono ayinza okuba nga tamanyiddwa nnyo eri abawagizi naye ali ku ffoomu mu Al-Duhail eya Qatar gy’azannyira. Yakuba ggoolo ssatu mu mupiira gumu Tunisia bwe yali ewangula Guinea, omupiira ogwagizza mu kibalo. Ateebedde Tunisia ggoolo 16 mu mipiira 9 gye yaakagisambira era ye muteebi kwe basibidde olukoba okunyeenya obutimba mu World Cup yaabwe esoose okuva 2006 bwe baali e Girimaani.

6. Alex Iwobi 22 (Nigeria); Omuwuwuttanyi wa Arsenal ono asuubirwa okubeera ow’obulabe singa anaakwatagana ne banne. Omutendesi Rohr yamwogeddeko ng’omu ku bazannyi b’alinamu essuubi kuba tatya kutwala mupiira mu maaso nga ttiimu erumba. Yateebera Nigeria ggoolo eyaginywereza mu lwokaano lw’okugenda mu World Cup bwe baali bakuba Zambia (1-0) mu October w’omwaka oguwedde. Yateeba ggoolo bbiri mu gw’omukwano nga Nigeria ekuba Argentina 4-2 n’aweza ggoolo 4 ze yaakateebera eggwanga lye mu mipiira 15.

7. Achraf Hakimi (Morocco); Musaayimuto wa Real ono ku myaka 20 gy’alina, alaze obukugu era oluusi y’atandika mu ttiimu ya Zidane. Azannye emipiira egy’enjawulo mu liigi ya Spain. Yateeba ggoolo bbiri bwe baali bava mu kibinja okwesogga World Cup. Hakimi azannya nnamba bbiri, baamuzaalira Spain wabula bazadde be bava Morocco era atunuuliddwa nga musaayimuto agenda okwagala okukakasa ensi nti tali mu Madrid lwa nsobi naye omupiira agumanyi.

8. Keita Baldé Diao 20, (Senegal); Omuwuwuttanyi ono ataddewo omutindo mu Monaco eya Bufalansa. Alina obwangu ku mupiira era abamu bamugeraageranya ku Franck Ribery owa Bayern era omutindo gwe gwawaliriza Monaco okumukansa. Mu  Senegal yagiteeberayo emu mu kampeyini y’okwesogga World Cup.

9. Kalidou Koulibaly (Senegal); Wa myaka 26 nga yazaalibwa Bufalansa nga bazadde be bava mu Senegal. Asobola okuzannya ennamba zonna ez’emabega era mu Napoli oluusi azannya nnamba 4, 5, 3 oba 2.

Bukya Koulibaly yeegatta ku Napoli mu 2014, ayolesezza ekitone, olw’obwongo bw’assa mu kuzibira era tekyewuunyisa nti ttiimu za Premier nnyingi zimutokota. Senegal, gw’esuubira okutandikirako mu kuzimba ekisenge kyayo mu kaweefube w’okukola obulungi mu mpaka zino.

10. Ayoub El Kaabi (Morocco); Eno ye World Cup ya El Kaabi esoose era bannansi bamutenda bwe yamenye likodi ya Given Singuluma owa Zambia bwe yateebye ggoolo ttaano ezibadde zikyasinze okuteebwa mu CHAN.

Yateebye 9 mu CHAN w’omwaka guno n’ayamba Morocco okwetikka ekikopo. Muteebi wa Botola era omutindo gwe yassaawo mu CHAN gwawaliriza ttiimu nga PSG, Atletico Madrid, Monaco n’endala okussaayo okusaba zimukanse.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze