TOP

KCCA FC ewangudde n'essa akazito ku Vipers

By Stephen Mayamba

Added 20th May 2018

KCCA FC emezze Bright Stars n'eyongera okussa akazito ku ttiimu ya SC Vipers ekulembedde ekimeeza kya Azam Uganda Premier League.

Liigi4 703x422

Jackson Nunda owa KCCA FC (ku kkono) ng'attunka ne Enock Walusimbi owa Bright Stars FC mu gwa Azam Uganda Premier league ku Lwomukaaga nga May 19, 2018 e Mwererwe. KCCA FC yawangudde 2-1. (STEPHEN MAYAMBA)

Bright Stars FC 1-2 KCCA FC

KCCA FC yalumbye Bright Stars omwayo e Mwererwe-Matugga n'egikubirayo ku ggoolo 2-1 okuweza obubonero 57 okuva mu mipiira 28 nga Vipers ekulembedde (n’obubonero 59) ebasinga obubonero bubiri bwokka wabula nga bombi babuzaayo emipiira ebiri sizoni okukomeKkerezebwa.

Derick Nsibambi ne Paul Mucureezi be baateebye ggoolo za KCCA FC ate Cocus Opejo n'ateeba eya Bright Stars.

KCCA FC esabirira Vipers ekole amaliri gonna mu mipiira ebiri gy'ebuzaayo okuli ogwa Express FC (ku Lwokubiri nga May 22) n’ogusembayo ng’ekyaza UPDF FC esobole okweddiza ekikopo kya liigi omwaka ogw’okusatu ogw’omuddiring'anwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamukubasuubuzingabakunganyaembiddemukifokyamatookegebattikanga 220x290

Ekirwadde ekikwata ebitooke kitiisizza...

Ekirwadde kino kisensera ekikolo ky'ekitooke era kw’omanyira nti kikwatiddwa ekirwadde kino endagala zaakyo ziwotookerera...

Abamukubasentebengabalimulukiikoenakulabye1 220x290

Bassentebe ba LC1 ne 2 bakukkulumidde...

Stephen Nsereko ssentebe w’ekibiina ekigatta bassentebe b’ebyalo n’emiruka mu Kampala yategeezeza nti gavumeti...

Omusajjangasimuulaengatozomulangiraherbertkimbugwe2 220x290

Bayiiyizza obukodyo bw’okuggya...

Abamu ku bagenyi abaabaddewo mwe mwavudde abasajja babiri abaakutte obutambaala nga buli munnabyabufuzi asituka...

Ssengalogonew 220x290

Emyezi ebiri sigenda mu nsonga...

Ndi muwala wa myaka 21. Nneegatta oluvannyuma ne ng'enda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto...

Matovu002 220x290

Abasajja abanoonya embooko z'abakazi...

Twagala abakazi abeetegefu okukola obufumbo ate nga bamamyi omukwano