TOP

Ab'Empologoma bazize ez'ebika

By Musasi wa Bukedde

Added 21st May 2018

Ab'Empologoma bazize ez'ebika

Lop2 703x422

Bya Josph Zziwa

KATIKKIRO w’ekika ky’Empologoma Patrick Kissekka Ddungu ategeezezza nga ekika bwekitagenda okwetaba mu mpaka z’emipiira gy’ebika gya sizoni eno olw’obutaka bw’ekika obusangibwa e Lwadda Matugga obuli mu mattigga.

Ddunga agamba munna magye Brigadier Elly Kayanja eyali yapangisibwa yiika 25.6 ku liizi nga kati esigaddeko emyaka nga 5 yefuula n’atundako yiika 11.45 eri aba Njovu Property Consultants abaamala edda n’okusalamu ebibanja ebiwera 80 kwossa n’okuzimbamu amakubo.

Ono agamba bwebaagezaako okulwanako ,Kayanja yabaggulako gwakusalimba era yayitwa ku poliisi ya Matugga nga 18/April/2018 yeyanjule paka nakati bakyali mukusika muguwa

Yategeezezza nga bwebatayinza kudda mu byamizannyo nga ekika tekikyalina wekitudde kuba kati tebakakasa nti bakyali na mu Buganda naddala nga Mengo tennavaayo kuyingira mu nsonga era bwatyo n’ategeeza omutendesi Polycap Kissekka okuyimiriza ttiimu okweetaba mu mpaka zino paka nga balina webatuuse .

Wabula ensengeka z’empaka zino ziraga nga bano bwebalina okuzannya n’Embogo nga 2/6/2018 era omuwandiisi w’akakiiko akaddukanya empaka zino David Kalibbala agamba bano tebannamutegeeza mu butongole wabula abiwulira mu ngambo era ye siwakukyusa mu nsengeka yamipiira.

Empologoma yasemba okuwangula empaka zino mu 2002 nga  gwemulundi ogwasooka wabula sizoni ewedde yaggyibwamu Obutiko ku mwetooloolo gwe 16.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam