TOP

Kawempe ewanduddwa mu FUFA Women's Cup

By Stephen Mayamba

Added 21st May 2018

BAKYAMPIYONI ba liigi y’eggwanga aba Kawempe Muslim baatunudde ebikalu ttiimu ya She corporate bwe yabalumbye omwabwe n'ebawandula mu mpaka za FUFA Women’s cup ku luzannya ‘quarter’ fayinolo.

Kawempe01 703x422

Stella Kaliba owa She Corporates (ku kkono) ng'attunka ne Sharon Apon owa Kawempe Muslim mu gwa liigi gye buvuddeko. She Corporates ywandudde Kawempe muslim mu mpaka za FUFA Women's Cup ku peneti 5-3 oluvanyuma lw'okulemagana 0-0. (STEPHEN MAYAMBA)

FUFA Women Cup

Kawempe Muslim 0(3)-0(5) She Corporates

UCU Lady Cardinals 4-0 Western United

Olira Women 4-0 Bugiri Town View

Muteesa Royals 1-0 Uganda Martyrs

She Corporates yawangulidde ku peneti 5-3 oluvannyuma lw’omupiira okuggwa nga buli ludda lwanjala ngalo era nga guno mwaka gwakubiri ogw’omuddiring'anwa nga Kawempe ekoma ku luzannya lwa ‘quarter’ fayinolo nga n’omwaka oguwedde baawandulwamu Muteesa Royals eyabakuba ggoolo 1-0 ku mutendera gwe gumu.

Mu mirala egyazannyiddwa, Olila Women FC yalaze obwetaavu bw'okweddiza ekikopo kya FUFA Women’s cup bwe yeesozze semi ng’ekomeredde Bugiri Town View ggoolo 4-0.

E Mukono, UCU Lady Cardinals yagudde ekiyiifuyiifu ku Western United n'egiwuttula ggoolo 4-0 so nga Muteesa Royals yawanduddemu Uganda Martyrs ku ggoolo 1-0.

Obululu bwa semi busuubirwa okukwatibwa mu wiiki bbiri okutegeera ttiimu bwe zinaakwatagana okufunako abanaazannya fayinolo egenda okutegekebwa e Bushenyi omwezi ogujja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Seb1 220x290

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde...

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde 15

Gab1 220x290

Omutaka Gabunga awummuzza basajja...

Omutaka Gabunga awummuzza basajja be

Pip1 220x290

Aba People Power bongedde okwenyweza...

Aba People Power bongedde okwenyweza

Lat1 220x290

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu...

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu eggere

Ch16 220x290

Ebyaviiriddeko Rema akuding'ana...

Ebyaviiriddeko Rema akuding'ana ne Evans