TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Paidha, Ndejje ne Nyamityobora zeegasse mu liigi ya babinywera

Paidha, Ndejje ne Nyamityobora zeegasse mu liigi ya babinywera

By Stephen Mayamba

Added 21st May 2018

NAMUNGI w’abawagizi ba ya Paidha Black Angels katono baffe essanyu ttiimu yaabwe bwe yamezze Kitara FC ku peneti n'egisoona ekifo ekisembayo okwesogga liigi ya babinywera mu ggwanga, eya Azam Uganda Premier League.

Bigleague1 703x422

Abazannyi ba Ndejje Lions nga bajaguza okuwangula obwannantameggwa bwa Big league n'ekikopo kye bawangudde okwesogga Azam Uganda premier league. (STEPHEN MAYAMBA)

Paidha Black Angels 0 (4)-0(2) Kitara FC

Ndejje Lions 1-0 Nyamityobora FC

Paidha yakubye Kitara  ku peneti 4-2 oluvannyuma lw’okulemagana 0-0 mu budde obugere bw'etyo ne yeegatta ku Ndejje Lions FC eya Yunivasite y’e Ndejje ne Nyamityobora FC ezaayitamu obutereevu oluvannyuma lw’okukulembera ebibinja zaabyo.

Mu gw’okusalawo nnantameggwa wa Big League, Ndejje yakubye Nyamityobora ku ggoolo 1-0 bwetyo ne yeewangulira kavu wa bukadde 10 nga bakyampiyoni.

Nyamityobora mu ky’okubiri yabuuseeyo n’obukadde 5 ate Paidha mu ky’okusatu obukadde 3.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Myu 220x290

Akatale k’obumyu kagguse

OBUMYU kimu ku bintu ebirimu ssente wabula abalunzi abamu bagenze babuvaako okubulunda olw’akatale akatono bwe...

Rolls1 220x290

Isaac Nasser yeeyiyeemu Rolls Royce...

ABAVUBUKA batandise okwetegekera amasappe ga Ssekukkulu. W’osomera bino g’omuvubuka Isaac Nasser ayingizzaawo...

Rolls1 220x290

Isaac Nasser yeeyiyeemu Rolls Royce...

ABAVUBUKA batandise okwetegekera amasappe ga Ssekukkulu. W’osomera bino g’omuvubuka Isaac Nasser ayingizzaawo...

Golola1 220x290

Golola akoze omubiri n’atiisa abawagizi...

OMUKUBI w’ensambaggere Moses Golola ‘Of Uganda’ kuno okutendekebwa kwaliko kwandimufuula omulema.

Ssape1 220x290

Ab’e Kamuli baliko DPC ow’amasappe...

Naye bw’aba agenda ku mikolo naddala nga guliko abanene alina engeri gye yeesabikamu n’afanaanira ddala Sam Omala...