TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Ebizimbe bya Commonwealth mu Australia babitonedde eddwaaliro

Ebizimbe bya Commonwealth mu Australia babitonedde eddwaaliro

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd May 2018

EBISULO amatendo ebyazimbibwa okusuza abazannyi n’abakungu mu mizannyo gya Commonwealth egyakaggwa mu kibuga Gold Coast, Gavumenti ya Australia ebitonedde yunivasite.

Village 703x422

Ebisula amatendo omwasuziddwa abakungu n'abazannyi ebyaweereddwaayo

EBISULO amatendo ebyazimbibwa okusuza abazannyi n’abakungu mu mizannyo gya Commonwealth egyakaggwa mu kibuga Gold Coast, Gavumenti ya Australia ebitonedde yunivasite.

Ebizimbe bino ebibalirirwamu doola za Australia obukadde 533 (eza Uganda obuwumbi 1,376), byaweereddwa Griffith University.

Ebizimbe ebimu bipya ddala nga byasuza bannabyamizannyo 6,600 okuva mu nsi 71.

Emizannyo gyali gya mulundi gwa 21 nga Uganda yawangulirayo emidaali 6.

Okusinziira ku nteekateeka empya, byakubeeramu ettendekero ly'abasawo b’abaana abalina obulemu, abanoonyereza ku bulwadde bw’abaana, waadi y’abaana nga byonna biri wansi w'eddwaaliro gaggadde erya Griffith University.

Ebizimbe ebirala gavumenti ebitegekedde abapangisa oba abaguzi nga byakusulwamu okusobola okulekawo omukululo nti Gold Coast kyategeka ku mizannyo gino.

Eyakuba pulaani y’ebizimbe bino, Jesse Judd yagambye nti yagikola n’amagezi n’obwegendereza ng'essira yalissa ku nkozesa yaabyo oluvannyuma lw’emizannyo gino n'emyaka 25 egijja.

MEEYA KY'AGAMBA

Meeya w’ekibuga Gold Coast, Tom Tate yatenderezza enteekateeka gye batambuzzaamu emizannyo gino n’agamba nti baagala ekibuga kino kijjukirwe bannabbyamizanyo n'abantu olubeerera.

alt=''
bimu ku bizimbe omwasuzibwa abazannyiEbimu ku bizimbe omwasuzibwa abazannyi.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam