TOP

Vipers tetuwona - Villa Vipers Villa

By Musasi wa Bukedde

Added 27th May 2018

Vipers tetuwona - Villa Vipers Villa

Lop2 703x422

Abazannyi ba Vipers nga basanyukira ggoolo ku gumu ku mipiira gya liigi.

Semi za Stanbic Uganda Cup: Villa - Vipers, Wankulukuku,

10:00 Ebisale; 10,000/-, 20,000/- ne 50,000/-

SC VILLA ne Vipers zaakuddamu okwegera eggayang’ano bwe zinaaba zisisinkanye ku semi ya Stanbic Uganda Cup leero (Ssande). Omupiira guno gwa luzannya lusooka ku semi wabula gusuubirwa okuba ogwa vvaawompitewo olw’akakuku ttiimu zombi ke zeerinako.

Vipers yakubye Villa mu nzannya za liigi zombi kyokka mu gwasooka e Kitende, Villa baagisalako obubonero bubiri olw’abawagizi baayo okukola effujjo. Gugenda kubeera Wankulukuku nga Villa erwana kuwangula kikopo kino waakiri ekiike mu CAF Confederations Cup kuba ekya liigi kyagaanyi.

Wabula ne Vipers eyagala kukiwangula efuuke Ssaalongo omulundi ogusooka. Miguel Da Costa atendeka Vipers, guno yagutiddemu bwe yagambye nti tekiba kyangu kuwangula ttiimu emu mipiira gisukka ebiri egy’omu-ddiring’anwa mu sizoni. “Sizoni eno, Villa twakagikuba emirundi 2 ekitegeeza nti egenda kutufiirako. Ekirungi guliko okudding’ana,” Miguel bwe yategeezezza.

Ttiimu zino zaakasisinkana omulundi gumu gwokka mu mpaka zino, Villa n’ewandula Vipers ku mugatte gwa (1-0) ng’ogwasooka gwalemagana (0-0). Wasswa Bbosa, atendeka Villa yategeezezza nti i bagenda kugolola ensobi ezaabakya mu mu liigi. “Tuli beetegefu okwang’anga Vipers mu mbeera yonna kuba obuwanguzi tubwetaaga,” Bbosa bwe yagambye

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

A1 220x290

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral...

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral & Cocktail Party’ e Munyonyo ebyana gye byalagidde emisono n’emibiri nga bwe balya...

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.

Tege 220x290

Kyokka mwana ggwe Lydia Jazmine!...

MWANAMUWALA Lydia Jazmine abamu gwe bayita muninkini wa gundi yamalayo. Akola bimusanyusa nga tafuddeyo ku bantu...

Kuba 220x290

Eyagaba abalongo bange yantamya...

NZE Charles Adwor, mbeera Mukono. Nasisinkana munnange mu 2014 nga nkyabeera e Jinja. Ebiseera ebyo nalina omulimu...

Melon1 220x290

Weyune enkola ya kontulakiti ofunemu...

OKUKOLA kontulakiti n’omuguzi y’emu ku ngeri omulimi n’omulunzi mw’asobola okuyita okufuna akatale k’ebintu bye...