TOP

Arsenal ewadde Ramsey endagaano ya myaka 5

By Musasi wa Bukedde

Added 31st May 2018

Endagaano ya Ramsey ne Arsenal ebuzaako emyezi 12 eggweeko era nga mw’eno, abadde afuna pawundi 110,000 buli wiiki ng'omusaala.

Ramsey4 703x422

Ramsey


ARSENAL wansi w’omutendesi Unai Emery, ewadde Aaron Ramsey endagaano ya myaka 5 n’emusuubiza n’okumwongera omusaala singa akkiriza n’agiteekako omukono.


Endagaano ya Ramsey ne Arsenal ebuzaako emyezi 12 eggweeko era mw’eno, abadde afuna pawundi 110,000 buli wiiki ng'omusaala.


Emery olwazze okutendeka Arsenal, n’ategeeza nti Ramsey y’omu ku bazannyi b’agenda okuzimbirako Arsenal era alina okusigala mu Arsenal.


Wakati mu kutuukiriza okusaba kwa Emery, abakungu ba Arsenal we bategekedde endagaano empya ya myaka 5 era ne bamusaba akkirize, agiteekeko omukono wadde ye ne kitunzi we tebannasalawo.


Wabula abakungu ba Arsenal bagamba nti alina okusalawo mu kiseera kino, nga singa agaana okuzza endagaano ye obuggya, baakumutunda baleme kufiirizibwa ng’agendedde ku bwereere nga sizoni ejja ewedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pansa 220x290

Stecia Mayanja ddala muzito oba...

HAJATI Faridah Mubiru manya Stecia Mayanja owa Kream Production ennaku zino alina engeri gy’agezze ate nga ne Sharia...

Dvq8ouzwkaakba8 220x290

Awagidde eky’okusimbawo Museveni...

SSENTEBE w’amatabi ga NRM agali ebweru wa Uganda, Al Haji Abbey Walusimbi awagidde ekyasaliddwaawo akakiiko ak’oku...

Letter002pix 220x290

Abaserikale ba poliisi y'oku mazzi...

ABASERIKALE ba poliisi erawuna ennyanja bataano bagudde mu mazzi eryato mwe babadde batambulira nga bali ku mirimu...

Tega 220x290

Bazzukulu ba Ssekabaka Ssuuna batabuse...

EBY’ETTAKA ly’e Lubowa ku lw’e Ntebe gavumenti ly’eyagala okuwa yinvesita azimbeko eddwaaliro ery’omulembe byongedde...

Kakiiko 220x290

Abaana ba Muteesa bongedde bwiino...

OMULANGIRA David Wassajja azzeeyo mu kakiiko k’Omulamuzi Catherine Bamugemereire ku by'ettaka ly’e Mutungo eryali...