TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Looya azze kusiguukulula Misagga mu ntebe ya SC Villa

Looya azze kusiguukulula Misagga mu ntebe ya SC Villa

By Musasi wa Bukedde

Added 1st June 2018

Looya azze kusiguukulula Misagga mu ntebe ya SC Villa

Deb2 703x422

MUNNAMATEEKA Edgar Agaba, yeesowoddeyo asiguukulule Ying. Ben Misagga ku bwapulezidenti wa SC Villa gy’agamba nti evunze nga yeetaaga ye okugigogola. Ekisanja kya Misagga, eky’emyaka ena kiggwaako mu July w’omwaka guno mwe bagenda okutegekera okulonda okulala.

Agaba, y’omu ku badayirekita omunaana aba SC Villa Limited kyokka Misagga akulembera Villa empandiise mu linnya lya Villa Jogoo Uganda. Okusinziira ku Agaba, Villa yali yawandiisibwa nga SC Villa Limited, Misagga n’agikyusa mu 2014, okugituuma Villa Jogoo Uganda era okusinziira ku ye (Agaba), Misagga ye yekka agivunaanyizibwako nga kkampuni ye (Agaba) ky’ayagala okulwanyisa.

Agaba agamba nti Villa yatandikibwawo ku musingi gw’abawagizi kyokka Misagga olwagikyusa ne babeera nga tebakyasobola kugibeeramu na kufunamu migabo. “Njagala kubbulula Villa kuba w’eri etuuse okwebbika mu nnyanja. Ttiimu ya wa ezannyira mu ‘Super’ nga tetuuza ttabamiruka?

Eterina nkola nnung’amu egobererwa ate nga n’abatendesi n’abazannyi tebasasulwa bulungi misaala gyabwe?,” Agaba bwe yeebuuzizza n’asaba ekibiina ekifuga omupiira mu Uganda ekya FUFA, kiyingire mu nsonga za Villa singa Misagga agezaako okulemerako ne yeekwasa nti Villa gy’akulembera, Agaba tagirinaako kakwate ekiyinza okwongera okusajjula emivuyo mu ttiimu. “Villa erina okuba n’obukulembeze obulondebwa abawagizi kuba be bannyini yo era njagala olutwala obwapulezidenti ngizze mu bantu nga nzigulawo amatabi g’abawagizi, okunoonya ekisaawe ky’enkalakkalira mwe tuzannyira,” Agaba bw’agamba Agaba ali ne Allan Papoak naye nga y’omu ku badayirekita mu Villa eteri ya Misagga wamu ne Peter Nsaba, eyaliko maneja waayo.

Bukedde bwe yatuukiridde Misagga yagambye nti talina buzibu na muntu ayagala kwesimbawo kuba kiraga nti Villa agitadde ku maapu kuba tewali ayagala kintu kibi.

Agamba nti ayaniriza buli muntu alina ebisaanyizo kyokka n’ategeeza nti Agaba tabirina kuba tasobola kubeera mukulembeze mu ttiimu bbiri kuba akyali mu Villa enkadde (SC Villa Limited ) eyalimu Fred Muwema, eyadda mu ‘lejula’. “Agaba simugaana naye alina okusooka okuva mu Villa enkadde alyoke agule kaadi ya Villa gye ndimu olwo yeesimbewo kuba atali mmemba tasobola kwesimbawo ku bwapulezidenti,” Misagga bwe yategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Kiganda avuddeyo ku bya...

OMUSUMBA David Kiganda owa Christian Focus Centre anenyezza gavumenti okusirika obusirisi netebaako ky’ekola ku...

Abazirwanakonabengandazaabwengabakwasaabamagyeempapulazaabwewebuse 220x290

Abadduka mu magye temugenda kusiimibwa...

Abaazirwanako baakusekera mu kikonde oluvannyuma lw'okuwandiisibwa mu ngeri gye bagambye nti ebawadde essuubi okulyaku...

Carbond0023scmyk7034221 220x290

Gav't ereese etteeka eriwera okutunda...

GAVUMENTI ereese etteeka erigenda okuwera okuleeta muno emmottoka enkadde.

Leka 220x290

Omuyizi eyafiiridde mu kidiba kya...

ENGERI omuyizi wa Perfect Primary School e Kulambiro gye yafiiridde mu kidiba omuwugirwa ekya Kiwaatule Recreation...

Fbimg15631781511232 220x290

Buubuno obukwakkulizo Bobi Wine...

OBUKWAKKULIZO Bobi Winebw’atadde ku Chameleone bwaddiridde enkiiko ez’enjawulo aba People Power ze baatuuzizza...