TOP

Ssebuguzi alwanyisa kikwa

By Nicholas Kalyango

Added 2nd June 2018

OLUTALO lw’abavuzi ba mmotoka z’empaka olw’okulwanira obubonero ku ngule y’eggwanga (NRC) luddamu leero (Lwamukaaga), bwe banaaba battunkira mu bitundu eby'enjawulo e Fort Portal.

20142largeimg228feb2014121407000703422703422 703x422

Ssebuguzi

Abavuzi 41 be beewandiisizza okuvuganya mu mpaka zino eza ‘UMC Fort Portal Challenge Rally’ nga za mulundi gwakusatu ku kalenda ya NRC.

SSEBUGUZI ALWANYISA KIKWA

Emyaka ebiri egisembyeyo, nnantamegwa wa 2006, 2009 ne 2014, Ronald Ssebuguzi tamazeeko mpaka z’e Fort Portal ng’omulundi ogusinga okujjukirwa gwaliwo mu 2016 lwe yali azikulembedde kyokka n'akuba mmotoka ekigwo ng’abuzaayo mmita 100 okutuuka empaka we zaali zikoma.

Wabula ku mulundi guno Ssebuguzi agamba nti agenda kulwana amaleko, ensimbi ze zireme kufa busa.

“Kitwala ensimbi, obudde n'ebintu ebirala bingi okwetegeka era kiruma obutamalaako mpaka. Twetegese bulungi era ku luno tuzze kumalako,” Ssebuguzi bwe yagambye.

Omwaka guno, Ssebuguzi yaakamalako empaka za mulundi gumu (ez’e Masaka) ku ssatu ezaakavugibwa, naye mugumu nti akyasobola okudda mu lwokaano lw’engule kuba wakyabulayo empaka za mirundi ena. Alina obubonero 50 mu kifo kya 11.

ABA 2WD BAWAGA

Ng’oggyeeko abalwanira engule, abavuzi abalala munaana bagenda kuba balwanira ngule ya mmotoka zisikira ku mipiira ebiri gyokka (2WD).

Embiranye esinga kubeera wakati wa Edwin Kalule (akulembedde n’obubonero 52) ne Timothy Gawaya (owookubiri ku 37).

Gawaya agamba nti: “Omwaka guno nnina okuwangula engule era e Fort Portal sirina kirala kye nnonayo okuggyako obuwanguzi nsobole okulinnya ku ntikko.” Bw'awangula afuna obubonero 20.

Kalule ye agamba nti talina amutiisa kuba mu bonna bwe bavuganya teri gw'atya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ashimu2webuse 220x290

Mu kukuba bbandi mwe nfuna ebisale...

Ekitone kyange kinnyambye okutuuka we nnali sisuubira mu kusoma n'okutambula mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo...

Akellofixingacarengineafterassemblingitwebuse 220x290

Omuwala akanika yingini za mmotoka...

Ono omuwala tazannya, akanika yingini ya mmotoka n'aleka kasitoma ng'amunyeenyeza mutwe. Okukanika nakuyigira ku...

Kyeyo 220x290

Abagenda ku kyeyo 54 bakwatiddwa...

MINISITULE y’ensonga z’omunda eraze Bannayuganda 54 abaakwatiddwa ku kisaawe kya Kenyatta International Airport...

Okukyala kw’ennaku zino engeri...

Ennaku zino okukyala kukyuse nnyo ng’omusajja bw’aba teyeenywezezza kuyinza okumulema.

Johnfb 220x290

Njagala alina empisa

Njagala eyeetegese okukola obufumbo, alina empisa n’omulimu gw’obuvunaanyizibwa okuva ku myaka 30 n’okweyongerayo....