TOP

Ani agenda okusikira Zidane mu Real Madrid?

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd June 2018

ENSONGA ezaaviiriddeko Zinedine Zidane okulekulira obutendesi bwa Real zikyabobbya abawagizi b’omupiira emitwe.

44022244303 703x422

Zidane eyasuddewo Real Madrid

Zidane yayambye Real Madrid okumegga Liverpool (3-1) ku fayinolo Champions League wiiki ewedde kyokka nga waakayita ennaku 5 zokka, yalangiridde nti alekulidde ekyalese abakungu ba Real nga basobeddwa.

Ng’ayogerako eri abaamawulire, Zidane yagambye nti, “Buli kimu kibaako enkomekerero yaakyo, njagala nnyo Real Madrid naye kye kiseera efune omutendesi omulala, eddoboozi eddala n’obukodyo obupya.”

Zidane yalya obutendesi bwa Real ng’adda mu bigere bya Rafael Benitez mu 2016 era emyaka esatu gy’agimazeemu, awangudde ebikopo 9 okuli n’ebisatu ebya Champions League, ekya liigi ya Spain ne FIFA Club World Cup (2) , UEFA Super Cup n’ekya Spanish Super Cup.

LWAKI YALEKULIDDE?

Yayagadde kugenda nga muzira; Okwawukanako abatendesi abalinda okuvuluga ebirungi bye bakoze, Zidane yayagadde agende ng’akyali muzira. Yeegasse ku Sir Alex Ferguson eyali owa ManU ne Pep Guardiola eyatendekako Barcelona abaasiibula nga ttiimu zaabwe zikyabaagala.

Bassita ab’emitwe eminene;
Okweerumaluuma mu bassita ba Madrid, Cristiano Ronaldo, Sergio Ramos ne Gareth Bale nakwo kumu ku nsonga lwaki Zidane yagenze. Ku ntandikwa ya sizoni eno, waabalukawo olutalo wakati wa Ronaldo ne Ramos era baatuuka ekiseera nga buli omu takyayagala kutunula ku munne. Kino kyaleka ttiimu yeeyawuddemu ebiwayi bibiri. Real yabadde ekyajaganya okuwangula Champions League, nga Ronaldo ali mu kutegeeza bannamawulire nga bw’agenda ekyoleka okwetemamu era Ramos yamwambalidde olwo Ronaldo n’alya ebigambo.

Puleesa y’okukola obubi mu liigi;

Zidane okuwangula Champions League kyatasiizza nnyo omulimu gwe n’okusirisa baggya be aba Barcelona ne Atletico Madrid abaawangudde liigi n’ekya Europa.

Obuwanguzi buno bwamuggyeeko puleesa y’okukola obubi mu bikopo by’awaka. Real yamalidde mu kyakusatu mu liigi ate mu Copa del Rey yakoma ku ‘quarter’.

Ensonda ziraga nti Zidane yabazeemu ekinaddirira singa Real eneeremwa okuwangula liigi, kwe yavudde asalewo okunnyuka. Kizibu Real okweddiza Champions League omulundi ogwokuna ogw’omuddiring’anwa.

Obutakkaanya ne bakama be; Zidane era abadde n’okusika omuguwa n’omugagga Fiorentino Perez naddala ku ngula y’abazannyi n’ennonda yaabwe mu ttiimu.

Ensonda zaategezezza nti Zidane amatira nnyo abazannyi abavudde mu akademi ya Real n’abo abakulidde mu liigi ya Spain sso nga Perez ayagala kugula bassita ab’obu-wanana abakuuma erinnya lya Real nga lyogerwako mu nsi yonna. Zidane abadde talina nsonyi kutuuza bazannyi ba bbeeyi.

OMUKULULO GW’ALESE MU REAL;

Ku myaka esatu Zidane gy’atendekedde Real bw’omuyita omuzira oba tolimbye. Mu bbanga lino, awanguliddemu ebikopo 9. Ng’oggyeeko ekyo, ye mutendesi asoose okuwangula ebikopo bya Champions League 3 eby’omuddiring’anwa sso nga yeegasse ku batendesi; Carlo Ancelotti ne Bob Paisley ababadde ne likodi y’okuwangula Champions League essatu.

Kitegeeza nti Zidane mu Champions League kafulu atawunyikamu ka babeere batendesi bakafulu.

BAANI ABASUUBIRWA OKUMUDDIRA MU BIGERE;

  1. Joachim Low; Y’omu ku basongeddwaamu olunwe ku basuubirwa okuddira Zidane mu bigere. Mu kiseera kino y’atendeka ey’eggwanga eya Girimaani ekibi kiri nti yatadde omukono ku ndagaano empya ne ttiimu eyo gye yawangulira World Cup mu 2014.
  2. 2. Mauricio Pochettino; Madrid emaze ebbanga ng’emuperereza era y’omu ku bali ku mwanjo gw’okudda mu bigere bya Zidane. Pochettino essaawa eno y’atendeka Spurs era wiiki ewedde naye yazzizza obuggya endagaano ye emukuumira ku Spurs okutuusa mu 2023.
    3. Arsene Wenger; Guno gwe mukisa Real gw’erina okukansa Wenger kuba talina kalimu oluvannyuma lw’okuva mu Arsenal. Perez yali yeegomba dda okumuwa omulimu gwa Real wadde nga mu kaseera kano alabika ng’ayabise.
    4. Jorge Sampaoli; Yatendekako Sevilla ekitegeeza nti omupiira gwa Spain agutegeera. Mu kiseera kino ye mutendesi wa ttiimu y’eggwanga eya Argentina kyokka mutendesi afiirawo okulaba nga ttiimu ye ewangula. Ekibi kye, azannya nnyo omupiira gw’okuzibira sso nga Real eyagala kulumba.
    5. Antonio Conte; Waakulekulira Chelsea singa Abramovic anaaleeta omutendesi omulala. Obuzibu bwa Conte y’entendeka ya bbaasi naye ekiyinza okumummisa omulimu.
    6. Massimiliano Allegri; Mu kaseera kano y’atendeka Juventus gy’awangulidde ebikopo bisatu ebya liigi eby’omuddiring’anwa n’okugituusa ku fayinolo ya Champions League emyaka ebiri. Wabula Allegri yagambye nti asigala mu Yitale.
    7. Guti; Y’omu ku batendesi abayinza okudda mu bigere bya Zidane. Guti y’omu ku bawuwuttanyi abaazannyira Real ng’essaawa eno y’atendeka ttiimu ya Real Madrid ey’abatasussa myaka 19. Ekiyinza okumuweesa omulimu kya kuba nti ttiimu nnyingi kati zirowooza ku kuwa abaali bassita baazo mirimu kuba be bamanyi ennono yaabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Seb1 220x290

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde...

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde 15

Gab1 220x290

Omutaka Gabunga awummuzza basajja...

Omutaka Gabunga awummuzza basajja be

Pip1 220x290

Aba People Power bongedde okwenyweza...

Aba People Power bongedde okwenyweza

Lat1 220x290

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu...

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu eggere

Ch16 220x290

Ebyaviiriddeko Rema akuding'ana...

Ebyaviiriddeko Rema akuding'ana ne Evans