TOP

Abaddusi bajjukidde John Akii Bua

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd June 2018

Abaddusi n’abemizannyo emirala egy’omukisaawe okuli okukasuka obuzito, amafumu n’okubuuka bavuganyizza mu mpaka ez’olunaku oluli e Namboole nga bajjukira omugenzi John Akii Bua eyasooka okuwangulira Uganda omudaali gwa zaabu mu mmita 400 omuli okubuuka obusenge mu mizannyo gya Commonwealth Games e Girimaani mu 1972.

Athleticsakiibuachamps92018 703x422

Mwanda Mawejje owa pulovinsi ya Bugisu (ku kkono) ng'attunka ne David Bagoole owa pulovinsi ya busoga mu gw'empaka za FUFA The Drum ogwazannyiddwa e Mbale. Bugisu yeesasuza Busoga eyagikuba 3-0 mu gwagulawo bwe yagikubye ggoolo 1-0. (STEPHEN MAYAMBA)

Zino zibadde za mulundi gwa 20 okutegekebwa nga ziri ku kalenda ya Uganda Athletics Federation (UAF).

Mu mpaka zino ezeetabiddwamu abazannyi abasoba mu 300 mubaddemu omuddusi ava mu lunyiriri lw’omugenzi John Akii Bua ayitibwa Julius Bua Peter nga muddusi wa kitongole kya Uganda Prisons.

Julius Bua avuganyizza mu mita 1,500 era ng’akutte kyakubiri bw’awanguliddwa ku kaguwa Timothy Ongom owa kiraabu ya Kyambogo, addukidde eddakiika 3:50.74 ate Bua n’amalira mu ddakiika 3:50.74.

Mu mpaka zino era, omukasusi w’olunyago Lucy Aber owa kiraabu ya Poliisi amenye likoda gye yali yeeteerawo mu 2010 bw’akasuse mita 53.90 so nga likoda gye yali yateekawo ya mmita 52:88.

Kyokka emisinde egya mmita 400 omuli okubuuka obusenge (Akii Bua gye yawangula) omuddusi wa kiraabu ya Makindye, Godfrey Chemwego y’agiwangudde ng’addukidde sikonda 56:02 n’addirirwa Andrew Apolot owa Prisons addukidde 57:16 ate Yayeri Apollo owa kiraabu ya UNFA n’akwata kyakusatu mu sikonda 59:75.

Mu bakazi gino giwanguddwa Babirye Nasiba owa kiraabu ya UWA mu ddakiika 1:05.90 n’addirirwa Zerida Mukyala owa UPDF mu ddakiika 1:13.22 ne Judith Akulo owa Ndejje mu 1:14.50.

Abaddusi bavuganyizza mu mitendera egitali gimu mu misinde egitali gimu.

Omwogezi wa Uganda Athletics Federation (UAF), Namayo Mawerere ategeezezza nti abaddusi naddala abato bali mu kwetegekera mpaka za Africa okuli eza Africa Youths mu Algeria omwezi ogujja, Africa Championships omwezi guno ne World Youth Olympics mu Argentina.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam