TOP

KIU bukya luba nga lwa mmindi etimpudde City Oilers

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd June 2018

TTIIMU ya KIU Titans yeggyeeko ekikwa kya sizoni ssatu nga tewangula City Oilers mu liigi ya Basketball bwe yafunye obuwanguzi ku Lwokutaano bwa bugoba 72-57 ku kisaawe kya YMCA e Wandegeya.

Cityoilersmukamyufungabubeefukanekiu 703x422

City Oilers mu Kamyufu nga bubeefuka ne KIU

Bya GERALD KIKULWE

MU BASKETBALL KU WIIKENDI

JKL Dolphins 50-46 UCU  Lady Canons

KIU Titans 72-57 City Oilers

KIU yanyize bannantameggwa ba National Basket ball League emirundi  5 egy’omudiring'anwa aba City Oilers  ebitoliro mu busungu obw’ekitalo n’ebasuuza likodi gye baabadde bakuumidde sizoni 3 nga tebawangulwa Titans okuli n’okubalemesa ekikopo kya sizoni ewedde bwe baabakubira ku Fayinolo enzannya 4-0.

Ku mirundi etaano City Oilers gy’emaze nga yeefuze ekikopo kya Basketball, ebadde ekiwangula ng’ekubiddwaamu omulundi gumu gwokka, wabula  ku luno nga sizoni yaakatandika baakakubwa emirundi ebiri ekyeraliikirizza abawagizi nti ekikopo kyandibayita mu myagaanya gy’engalo.

“Tumaze ebbanga nga twetamiddwa ejjoogo lya City Oilers gye tuli, naye kino kitegeeza nti tuli ku Kikopo oluvannyuma lw’okukuba kyampiyoni era tetugenda kudda mabega,” Brian Wathum atendeka KIU Titans bwe yategeezezza.

Micheal Bwanga owa KIU yafuuse omuzannyi w’olunaku bwe yakoze obubonero 19 ne Libawundi 9 n’addirirwa Denis Balungu ne Sam Agutu ku bubonero 13 ku 12.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wano 220x290

Centenary bank etadde ssente mu...

Aba Centenary bank beegasse ku Bukedde famire mu nteekateeka yaabwe ey’okuddiza ku basomi ba Bukedde, abalabi ba...

Ye 220x290

Omusajja ow'ebbuba asazeesaze mukazi...

OMUSAJJA alumbye mukyala we ku bugenyi gw’alinamu abaana bana, n’amusala obulago n’amutta ng’amulumiriza obwenzi....

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Fdc21a700517 220x290

Kkooti egobye omusango gwa Besigye...

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza...

Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente...

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde...