TOP

Engeri emmotoka ya Bukenya gye yakuttemu Omuliro

By Musasi wa Bukedde

Added 4th June 2018

Engeri emmotoka ya Bukenya gye yakuttemu Omuliro

Jib2 703x422

Mmotoka ya Yusuf Bukenya eyakutte omuliro mu mpaka ezaawedde eggulo e Fort Portal. Ku kkono ng’etuntumuka.

MMOTOKA z’empaka ezaawedde eggulo e Fort Portal kaabuzeeko katono okubaamu ebiwoobe, mmotoka y’omu ku bavuzi, Yusuf Bukenya bwe yakutte omuliro n’ebengeya wabula Katonda n’amuwonya okufiiramu.

Wakati mu kwesisiwala n’okwewuunaganya, abantu baatenze Bukenya okubeera n’omukisa n’asimattuka mmotoka eno eyasiridde n’efuuka vvu! Wabula waliwo abalala abaagambye nti alina ebisiraani kuba mmotoka y’emu yakwata omuliro mu mpaka ezaayindira e Hoima omwaka oguwedde, naye nga ku mulundi ogwo abazimyamwoto baayanguwa okuguzikiriza.

tal Rally’ okukwata omuliro nga yaakavugako kiromita musanvu mu lukontana lwa kiromita omunaana olwasoose eggulo. Mmotoka eno enkozeseeko ebalirirwamu doola 75,000 (eza Uganda obukadde 270). “Kya nnaku nti sisobodde kutaasa mmotoka yange naye kasita Katonda awonyezza obulamu bwange.

Ebiwundusi bya maanyi nnyo wabula kati tunoonya ngeri ya kufuna mmotoka mpya tuttukize okuvuganya kwaffe,” Bukenya, bwe yategeezezza oluvannyuma lw’okuva mu ddwaaliro. Yabaddeko pulasita mu ffeesi olw’ebisago by’omuliro. Bukenya 26, mutabani wa Wycliffe Bukenya, eyali omuvuzi wa mmotoka ne ddigi nga munnamawulire Frank Sserugo ye yabadde amusomera maapu.

EKYAVUDDEKO OMULIRO Bukenya yattottodde nti; “Sserugo yahhambye nti mmotoka eyaka. Mu kwagala okulaba omuliro we gutuuse, mmotoka yanvudde mu mikono ate nga waliwo ekifunvu kye tulina okukuba.

Twakikubye nga sseetegese mmotoka ne yeevulungula. Nabadde ngiddamu nzigyeyo bye tukozesa omuliro we gwanjokerezza mu maaso.” Ssebuguzi yeggyeko ekikwa Oluvannyuma lw’emyaka esatu nga tawangula mpaka zino, nnantameggwa wa 2006, 2009 ne 2014, Ronald Ssebuguzi yeggyeeko ekikwa n’awera nti waakubaddamu envuunulabibya mu za Pearl of Africa ezinaayiribira e Kayunga omwezi ogujja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga