TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Micho alumbye Desabre eyamuddira mu bigera: 'Tolina waaka'

Micho alumbye Desabre eyamuddira mu bigera: 'Tolina waaka'

By Musasi wa Bukedde

Added 6th June 2018

EYALIKO omutendesi wa Cranes, Micho Sredojevic ajereze entendeka ya Sebastien Desabre, eyamuddira mu bigere, n'agamba nti ya kibogwe nnyo.

Pada1 703x422

Desabre ne Micho gwe yaddira mu bigere eyamuvuluze

Mu kiwandiiko kye yasindise ku mukutu gwa yintanenti, Micho yagambye nti Desabre yatuukira mu kwewaana n’okusuubiza Bannayuganda ensi n’eggulu nga bw'agenda okukyusa omupiira aguggye ku kye yayita 'ekipiirapiir' bazannye 'akawoowo'.

Nga yaakaweebwa omulimu guno mu December w’omwaka oguwedde, Desabre yasuubiza okukyusa enzannya y’omupiira gwa Uganda, kyokka ebintu tebinnamutambulira bulungi.

Mu mipiira 9 awanguddeko gumu, alemaganye 4 n’okukubwa 4, Micho ky’agamba nti omutindo si gwe gusuubirwa mu musajja eyajja yeewaana.

“Okubwa otya Central Africa ne Niger agatalinaamu wadde akapiira akakununkiriza ku Nigeria ne Senegal ze nnatigomya, ne weebala okubeera ne ‘waaka!, Micho bwe yeewuunyizza.

Cranes yakubiddwa Niger (1-0) ne Central African Republic (2-1) mu kikopo kya ‘Three Nations Tournament’ wabula nga yasooka kukubwa Congo Brazzaville (1-0) mu gw'omukwano, Zambia (3-1), Namibia (1-0) n'okulemagana ne Ivory Coast mu CHAN, ssaako Malawi ne Guinea gyonna (0-0) mu gy'omukwano.

Micho Yagasseeko nti abazannyi bavudde ku mupiira ogwali gubawanguza olw’okubasuubiza ebitasoboka.

“Omutendesi wammwe agezeeko okuwangula emipiira gy’obuvunaanyizibwa egiwera 9 nga bwe nnakikola, agatteko n'okukuba ttiimu ez'amaanyi nga Nigeria, oba okulemagana ne Senegal ezaagenze mu World Cup,” Micho bw’agamba, n'awunzika nti singa tebaamusindiikiriza, Uganda yandigenze mu World Cup.

" Nkyali muwagizi wa FUFA ne Cranes era nsuubira nti olw’okuba twatandika na kukuba Cape Verde tukyasobola okugenda mu z’Afrika omwaka ogujja,”.

Micho, eyatwala Cranes mu mpaka z’Afrika oluvannyuma lw’emyaka 38, mu kaseera kano y'atendeka Orlando Pirates ey'e South Afrika.

Nga yaakatwala omulimu gwa Cranes, yatandika na kukubwa Liberia (3-1) mu gw'omukwano n’awangula Liberia ne Angola (1-0) ne (2-1) mu gy’okusunsulamu abaazannya World Cup ya 2014, yaadamu okuwangulwa Senegal (1-0).

Micho era yayisaawo Cranes okugenda mu CHAN ng’akubye Tanzania eka ne ku bugenyi (3-1) ne (1-0) sso nga ne bwe baagenda mu mpaka za CHAN ez'akamalirizo yavaayo n’obubonero 7.

OMUKUGU AMWANUKUDDE

(Hamid Juma ‘Midi’ akulira ebyekikugu ku Cranes) Micho ali mu kwerogozza kuba naye talina kya maanyi kye yakola.

Ebintu byonna yabikoleranga ku ffe, kati agamba atya nti yali wa kabi okusinga abaliwo.

Bw'aba mulungi asooke awanguleyo ekikopo gye yalaga tutegeere nti wa kitalo. Desabre tumuwe obudde ajja kukola kye tumusuubiramu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...