TOP

Apolot ow'ensambaggere azze mu bikonde

By Musasi wa Bukedde

Added 7th June 2018

OMUZANNYI w’ensambaggere omukazi, Patricia Apolot, ng'azze alondebwa bannamawulire abasaka eg'emizannyo enfunda ssatu, akyusizza ebbala n’adda mu bikonde.

Mwambi 703x422

Apolot yaakazannya ennwaana ssatu mu bikonde era akwata kya 20 ku bakazi 75 mu nsi yonna.

Ennwaana zino zonna azizannyidde bweru wa ggwanga.

“Njagala kutegeeza Bannayuganda nti okugenda mu nsambaggere nnatandikira mu bikonde, naye emisipi gy’ensambaggere gyonna ngiwangudde nga kati ntunuulidde gya bikonde. Ng'oggyeeko ekyo, njagala n'okusikiriza abakazi bangi mu bikonde kubanga tebabyettanidde nnyo,"

Apolot bwe yategeezezza mu kutongoza olulwana lwe olugenda okusooka mu Uganda, nga July 7, ku wooteeri ya Pacify.

Agenda kuttunka ne Eveline Odero (Kenya), ow'ennwaana 19. Akulidde okubitegeka, Richardson Kigozi, ategeezezza nti ayagadde okuggyayo ttalanta ya Apolot ebadde temanyiddwa, era bamusuubira okuyitimuka afuuke kyampiyoni w’ensi yonna amangu ddala.

Ennwaana z'abasajja ez'enjawulo ze zigenda okuggya abawagizi ekifu ku maaso.

Bano luliko; Musa Ngege, Ismail Semakula, Mustafa Mongolia, Kenny Lukyamuzi De Mexico, Patrick Atuhaire ne Richard Mwesigwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lukwago 220x290

‘Twagala kumanya musaala gwa Byamukama’...

LOODI meeya Erias Lukwago ne Male Mabiriizi batutte okusaba mu kkooti nga baagala kkooti ebawe fayiro y’akulira...

Worship 220x290

Abantu beemulugunya ku bukambwe...

BANNAKAMPALA balaze obutali bumativu ku bikwekweto ebikolebwa ekitongole ky’amasannyalaze ekya UMEME ku babba amasannyalaze...

Wash 220x290

Abawala b’e Nansana 2 bafi iridde...

JUSTINE Namigadde 32 yalekawo abaana be n’agenda mu ggwanga lya Saudi Arabia okukola emirimu gya waka ng’asuubira...

Abawala b’e Nansana 2 bafi iridde...

JUSTINE Namigadde 32 yalekawo abaana be n’agenda mu ggwanga lya Saudi Arabia okukola emirimu gya waka ng’asuubira...

Meet 220x290

Bukedde eyanise enguzi mu kufuna...

BW’OSANGA makanika eyeefudde akanikira emmotoka ebweru wa ofiisi ezikola ku bya paasipooti, tosooka kumubamirako...