TOP

Mutebi ayogedde lwaki yasudde Shaban

By Musasi wa Bukedde

Added 10th June 2018

Mutebi ayogedde lwaki yasudde Shaban

Hip2 703x422

Mike Mutebi

ABAWAGIZI ba KCCA ababadde beebuuza lwaki omuteebi waabwe Muhammad Shaban teyalabiseeko ku fayinolo ya Uganda Cup, omutendesi Mike Mutebi abazzeemu bw’agambye nti ye takolagana na bamawale. Eggulo (Lwamukaaga), abawagizi ba KCCA baagenze e Bukedea nga balina essuubi mu Shaban nti yanakulembera olugoba oluteebi oluvannyuma lwa Derrick Nsibambi okuba nga yatundiddwakyokka kyababuuseeko bwatalabiseeko.

Mutebi yategeezezza nti yakoma okulaba Shaban bwe baali balemagana ne Police (2-2) e Namboole mu gwasembayo mu liigi nga n’okutuusa kati tamanyi bimufaako wadde nga yamulabyeko e Lugogo ng’alina (Shaban) b’ali nabo. “Shaban alowooza nti wa kitalo nnyo ekitali kituufu, ttiimu yaffe terina budde bwa kumalira ku muzannyi omu ng’ate eby’okukola bingi. Shaban yagenda talina gw’abuulidde gy’alaze akabonero akalaga obunyoomi,” Mutebi bwe yategeezezza.

Yagasseeko nti KCCA si ttiimu ya ‘bamawale’ na bakyetwala era Shaban w’addira e Lugogo waakuweebwa ekibonerezo ekikakali. Shaban okwegatta ku KCCA yava mu Onduparaka mu makkati ga sizoni ewedde, kyokka waasooka kubaawo kusika muguwa wakati wa ttiimu zombi era ensonga zaggweera mu FUFA. Sizoni eno, Shaban ateebedde KCCA ggoolo za liigi 13. Bukedde bwe yayogeddeko ne Shaban yagambye nti, kooci okugamba nti yeebulankanyizza kikyamu kuba yalwalira ku Cranes nga bali e Niger n’atuma Ivan Ssewanyana (omusawo wa Cranes ne KCCA) amutegeeze ku buvune buno. “Nalwala dokita alaba era ne mmutuma ang’ambire kooci kyokka simanyi lwaki agamba nti teyamanya.

Nneebuuza nnyo lwaki buli lwe ng’amba nti ndi mulwadde tebakkiriza,” Shaban bwe yeebuuzizza Bwe yabuuziddwa lwaki teyeetuukira n’annyonnyola omutendesi, yazzeemu nti, “ Ennamba y’essimu ya kooci sigirina bwe mba nnina kye nneetaaga njogera ne kooci Badru Kaddu. Lwe nasembye okugenda e Lugogo, nawulidde boogera nti saagala kuzannya Vipers era y’ensonga lwaki siriiwo naye ebyo nze si bye ndiko,” Shaban bw’annyonnyola. Eggulo KCCA yattunse ne Vipers ku fayinolo ya Uganda Cup.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gab1 220x290

Omwana agambibwa okubuzibwawo ku...

Omwana agambibwa okubuzibwawo ku lwomukaaga atadde bazadde be ku bunkenke

Man2 220x290

Ebireetera omusajja okusuulawo...

Ebireetera omusajja okusuulawo omukazi gw’afunyisizza olubuto

Deb1 220x290

Ebivaako ‘kaseti’ okugaaya‘tteepu’...

Ebivaako ‘kaseti’ okugaaya‘tteepu’ n’egiremeramu

Web2 220x290

Enkuba egoyezza ekkanisa e Lwengo...

Enkuba egoyezza ekkanisa e Lwengo

Reb1 220x290

Aba Bbanka enkulu bannyonnyodde...

Aba Bbanka enkulu bannyonnyodde lwaki ebimu ku biwandiiko bya Bbanka ezaatundibwa tebabirina