TOP

Entujjo USPA ya July nga 20

By Silvano Kibuuka

Added 12th June 2018

Entujjo USPA ya July nga 20

Sab1 703x422

Muwanga Ssabbiiti pulezidenti w'ekibiina ekigatta bannamawulire abasaka eby'emizannyo ekya USPA

ABA USPA balangiridde olwa July 20 okusiimirako bannabyamizannyo abaakola obulungi mu 2018 ku ntujjo eya buli mwaka eya Nile Special – USPA Gala nga yaakubeera ku Imperial Royale Hotel.

Birangiriddwa Pulezidenti Sabiiti Muwanga mu lutuula lwabwe kwe balondedde ttiimu y’eggwanga eya Cricket ku buzannyi bwa May.

Cricket Cranes yawangudde empaka z’ensi yonna ez’ekibinja ekyokuna n’adda mu kyokusatu kye yawandulwamu omwaka oguwedde mu nsitano eyali e Lugogo.

Cricket Cranes ewangulidde ku bubonero 390 n’eddirirwa Vipers SC eyawangudde liigi ya Azam Premier League efunye 305 olwo omusambi wa ttiimu y’abakazi eya Kawempe Muslim Tracy Jones Akiror n’akwata kyakusatu ku 295 ng’avuganyizza lwa kusinga bazannyi banne mu liigi y’eggwanga ey’abakyala mu mupiira ogw’ebigere.

USPA era basiimye omuddusi Moses Kipsiro eyakutte ekyokubiri mu misinde gya kiromita 10 mu Bungereza wamu ne ttiimu ya Kawempe Muslim eyawangudde liigi.

“Entujjo tugitaddewo nga July 20 okujjukira olunaku kwe tuweereze emyaka 38 nga yawandiikibwa July 20 1970. Tuluddewo okusiima abawanguzi lwa World Cup n’ekisiibo bye tubadde twagala bisooke okukomekkerezebwa,” Muwanga bw’ategeezezza.

Batongozza era enkolagana n’ekibiina ekuddukanya emizannyo gy’abaliko obulemu ekya Uganda Paralympics Committee (UPC) ekisabye bakiyambe okumanyika, okufuna abavujjirizi n’okubunyisa enjiri y’okunoonya abazannyi mu ggwanga lyonna.

Fred Sekitto omu ku baatandikawo USPA asiimye abagiddukanya okugikuuma n’okugaziya empeereza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip1 220x290

Abadde ayagala okuziika ssanduuku...

Abadde ayagala okuziika ssanduuku y'omufu enkalu asimattuse okugajambulwa abakungubazi

Kat3 220x290

Katikkiro Mayiga akunze abantu...

Katikkiro Mayiga akunze abantu okujjumbira omulimu gw'okuzimba eddwaliro ly'e Nkozi

Rep1 220x290

Ebya Federo ne regional tier bikomyewo...

Ebya Federo ne regional tier bikomyewo mu palamenti

Kat1 220x290

Gavumenti egenda kusengula abantu...

Gavumenti egenda kusengula abantu 6000 okuva e Bududa

Pob1 220x290

Gav't ekakasizza emisolo ku takisi...

Gav't ekakasizza emisolo ku takisi ne bbaasi