TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Ebyenjigiriza mu Uganda bwe bikyukamu yaakuweza 'bapulo' mu Bulaaya - Mukugu

Ebyenjigiriza mu Uganda bwe bikyukamu yaakuweza 'bapulo' mu Bulaaya - Mukugu

By Musasi wa Bukedde

Added 12th June 2018

Rising Stars, y'emu ku akademi eng'uundiivu mu ggwanga. RICHARD MUGERWA yatuukiridde nnannyini yo, Matt Arnett, n'ayogera ku bika bya akademi ne lwaki abazannyi abatayise mu zo bakaluubizibwa okuzannyira mu Bulaaya.

Tala1 703x422

Arnett (wakati) ng'ayogera eri abazannyi.

Ndi Mumerika naye mu Uganda nduddemu era okutandika akademi nasooka kutegeera engeri omupiira gye guddukanyizibwamu.

Omupiira nnaguzannyako okutuusa mu siniya, ne nnyigira obutendesi nga kati mbumazeemu emyaka 18.

Ndi mukugu mu kutendeka omupiira gw'abato era nnina ebbaluwa ya Grade E eya Bulaaya. Nnina emyaka 36, ndi mufumbo era nnina abaana babiri.

Nze nkulira ekibiina kya Rising Stars Ministries ekirabirira abaana abatalina mwasirizi.

Mu Uganda twajja mu 2008, ng'ekimu ku bintu bye tweyambisa okusanyusa abaana gwe mupiira.

Wano we nnafunira ekirowoozo ky'okutandika akademi, era nagissa Gayaza nga tetusasuza muntu yenna. Oluvannyuma nassaawo n'ekifo abaana mwe basobola okusomera ebitabo.

Nga wayiseewo omwaka nga gumu n'ekitundu, abazadde abamu bampaliriza okutandika akademi endala mu Kampala nga bagamba nti olugendo lw'e Gayaza lubamenya.

Nnagitandika naye yo yaakusasulira kubanga n'ebikozesebwa byanjawulo, ate nga biri ku mutindo gwa nsi yonna.

Ekigendererwa kya akademi yaffe kwe kutegeka abaana okuzannya omupiira ogutuuka ku mutendera gw'ensi yonna, kye tuva tubawa obudde obumala nga tubeekenneenya.

Tukuba omulanga eri amakampuni n’abantu ssekinnoomu okutukwatirako kubanga ssente ze twetaaga nnyingi nnyo okusobola okutuukiriza ebigendererwa byaffe.

Mu kaweefube w'okunoonya ensimbi, twabadde n'olunaku lwa famire ku Lwomukaaga oluwedde (June 2) era okuyingira kwabadde kwa 10,000/-.

Nga June 9, 2018 tutegeseewo empaka z'ebitongole ng’omuwanguzi waakufuna ekikopo n'emidaali.

Okwewandiisa kwa 500,000/- ku ofiisi zaffe era buli ttiimu ya ddembe okwetabamu. Ekifuula Akademi ey'enjawulo Akademi yaffe ye yokka eri pulofesoono mu Uganda yonna.

Ffe ekikulu si kya ssente era buli mutendera gwa ttiimu zaffe (tugendera mu myaka), tuguteekamu abaana 20 bokka. Kino kisobozesa abatendesi baffe okuwa buli omu obudde n'okutendekebwa okumala nga bwe tugoberera bye bakola.

Abaana baffe batendekebwa emirundi esatu buli wiiki. Buli mwaka tuba n'empaka ez'enjawulo wabweru w'eggwanga. Emyezi ebiri egiyise twabadde Dubai, ate kati tuli mu kwetegekera lugendo lw'Amerika mu July.

Tugenda kukyalira akademi ez'enjawulo, tufune emisomo okuva mu batendesi abakugu mu nsi yonna ,era tusuubira nti we tunaamalira ng'abazannyi n'abatendesi tebasigadde kye kimu.

Okusoomoozebwa

  • Akademi za wano ezisinga tezirina busobozi buzitwala bweru kulaba engeri ttiimu zaayo gye ziddukanyizibwamu, n'okuwa abaana omukisa okuzannyirako wabweru w’eggwanga ate nga kye kirooto kya buli muzannyi.
  • Mu Uganda tewali liigi z'abato ziri ku mutindo gwa nsi yonna, ekitubeerera ekizibu okugenda ebweru w'eggwanga okuvuganya n’ensi ezizannya liigi ez'enjawulo buli mwaka.
  • Akademi mu Uganda tezirina bikozesebwa bimala, era oluusi tufuna obuzibu nga tuziyise okuzannyamu omupiira gw'omukwano oba nga tutegese empaka ez'enjawulo, ate nga zaagala tuziwe buli kimu, omuli n'entambula!
  • Ebisaawe bibi, ne weesanga ng'omwana ali wansi w'emyaka etaano azannyira ku kataka, ng'essaawa yonna ayinza okugwa n'afuna obuvune.

FUFA KY 'ERINA OKUKOLA

Eteekewo liigi z'abaana abato ezituukana n'omutindo gw'ensi yonna ate ebazimbire ebisaawe byabwe. Mu nsi ezimu, osanga ebisaawe by'abaana bingi ng'osobola n’okutegekerawo emipiira 10 omulundi gumu.

  • Mu Uganda abantu banyooma omupiira naye ebweru omwana ava buto nga bamutendeka kukuba kapiira. Wano okufuuka munnamawulire oba dokita, basoma okuva ku makya okutuusa olweggulo okumala emyaka n'emyaka, kyokka omupiira baagala kugusomera essaawa bbiri zokka buli wiiki!
  • Bayambeko abatendesi b'abaana okufuna layisinsi, ng'abatazirina tebakkirizibwa kubatendeka. ekiremesa bapulo ba Uganda okwaka Kino kiva mu kutendekebwa okutono kwe bafuna nga bakyali bato. Wano akademi ezisinga zitendekebwa essaawa bbiri buli wiiki, ekikonya omwana nga ne bw'akula tasobola kuvuganya na mwana eyatedekebwanga essaawa 10 buli wiiki.
  • Ekirala, sisitiimu ya Uganda ey'ebyenjigiriza teyamba baana kusoma nga bwe bazannya emizannyo egy'enjawulo, ate ng'okunoonyereza kulaga nti omwana agatta byombi aba mugezi nnyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bo1 220x290

Bobi Wine wakuvunaanibwa mu kkooti...

Bobi Wine wakuvunaanibwa mu kkooti y'Amagye

Index 220x290

Ebya Bobi Wine bibi! Agenda kuvunaanibwa...

Ebya Bobi Wine bibi! Agenda kuvunaanibwa kkooti y'amagye lwa kulya mu nsi ye lukwe

39248881101567630827890782826876916504461312n 220x290

Poliisi eraze emmundu bbiri, basitola...

Poliisi eraze emmundu bbiri, basitola n'amakerenda g'eyise enjaga ewa Bobi Wine:'Twabisanze mu wooteri mw'abadde...

Shecranes03 220x290

She Cranes ekubye Malawi mu za...

SHE CRANES ttiimu y’eggwanga ey’okubaka enkya ya leero eyongedde okulaga nga bw'eri emmalirivu okusigaza engule...

Hip1 220x290

Nnansi agenze ku ndagu okutereeza...

Nnansi agenze ku ndagu okutereeza amaka ne bamubba