TOP

Nnabbi Mbonye agenze mu kkooti ku by’okumugoba e Lugogo

By Musasi wa Bukedde

Added 16th June 2018

EVIS Mbonye eyeeyita nabbi ng’ayita mu buweereza bwe obwa ZOE Fellowship atutte gavumenti mu kkooti enkulu nga agiwawaabira olw’okumugobya okusaba kwe mu kisaawe kya Lugogo Cricket Oval.

Sindika 703x422

Ekisaawe kya Cricket Oval. Mu katono ye nnabbi Mbonye

Buli Lwakubiri, abagoberezi ba Mbonye babadde bakuhhaanira mu kisaawe ky’e Lugogo okusaba nga bagamba nti singa enteekateeka z’okubagoba mu kisaawe zigenda mu maaso bagenda kutaataganyizibwa mu kusinza kwabwe.

Ssentebe w’ekkanisa eno, Ronald Akankwasa agamba nti nga May 14, 2018 akakiiko ka National Council of Sports kaayingira mu ndagaano y’emyaka 2 n’ekkanisa okupangisa ekisaawe ky’e Lugogo okukikozesanga ng’ekkanisa.

Agamba nti nga baakatandiika okukozesa ekisaawe baakyewuunya okuwulira amawulire ne ku mikutu gya yintanenti nga gagamba nti gavumenti ng’eyita mu kakiiko ka National Council baali mu nteekateeka za kusazaamu ndagaano awatali nsonga yonna ebaweebwa.

Nga June 5, 2018, kaliisoliiso wa gavumenti, Irene Mulyagonja yalagira akakiiko ka National Council of Sports okusazaamu endagaano gye baakola ne Mbonye mbagirawo era bakome okuteeka okusabira mu kisaawe.

Okusinziira ku Mulyagonja endagaano yakolebwa mu nsobi era mu bumenyi bw’amateeka era nga bakyagyekkaanya n’okuginoonyerezaako nga n’abagoberezi okusigala nga basinzizza mu kisaawe kiyinza okwonoona embeera y’ekisaawe ekiddaabirizibwa aba Uganda Cricket Association.

Akankwasa agamba nti tewali bukwakkulizo n’amateeka mu ndagaano bye baamenya biyinza kuviirako ndagaano yaabwe kusazibwamu era tebaweebwanga nsonga nnambulukufu lwaki endagaano egenda kusazibwamu.

Wano we baasinzidde okugenda mu kkooti yeba eyimiriza gavumenti okutuukiriza enteekateeka yaayo ey’okubagoba mu kisaawe ky’e Lugogo kubanga baliwo mu mateeka okusinziira ku ndagaano enjuyi zombi gye zaateekako omukono.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...